• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga atongozza Bboodi ya Werinde Insurance, asabye abantu okwettanira Yinsuwa

Gambuuze by Gambuuze
June 5, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga atongozza Bboodi ya Werinde Insurance, asabye abantu okwettanira Yinsuwa
0
SHARES
33
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Bulange – Mmengo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akunze Obuganda okwettanira enkola eya Yinsuwa okusobola okwerinda ebizibu ebitali bimu nga endwadde, obubenje saako nebibamba ebitali bimu ebisobola okuzing’amya  enteekateeka zabwe.

Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abukoledde ku Bulange e Mmengo ku Lwokusatu bw’abadde atongoza Bboodi ya kampuni y’Obwakabaka eya Werinde Insurance Brokerage Services Ltd.

Owek. Mayiga akaatiriza obwetaavu bw’okukola n’okwagala saako n’obumalirivu nga agamba bino bye biyambye abakulu bano okutwala omulimu gwabwe mu maaso wakati mu kusomoozebwa okw’enjawulo.

Ono alabudde abantu ba Beene okwewala obutitiizi kuba buviirako bangi okutunuulira ebizibu byokka nga bakola emirimu kyagamba nategeeza nti abo abalya ensi basooka kumalirira.

Mukuumaddamula akinogaanyiza ng’Obuganda bwe bwetaaga abantu abalina obamalirivu ate nga bakugu nga abatuula ku bboodi eno okusobola okudda ku ntikko.

Kamalabyonna bwatyo akunze abantu ba Beene n’eggwanga lyonna okwetanira Yinsuwa okusobola okwenganga ebizibu ebitali bimu ng’endwadde, okusomesa abaana saako ne bibamba ng’ekyeya nebirala.

Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,  Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asanyukidde ebituukiddwako bukyanga kampuni eno egunjibwawo mu mwaka gwa 2021 omuli nokulondebwawo ngesukulumye kundala mu buyiiya wano muggwanga.

Wabula Owek. Waggwa yenyamidde olw’omuwendo omutono ogw’abantu abakozesa Yinsuwa gwagamba nti tegukola wadde ekitundu ekimu ku buli 100 mu ggwanga lyonna.

Ono annyonnyodde nti abantu abawera 600 bebakeegatta ku Kampuni eno nga bafunayo Yinsuwa so nga nabalala abasoba 1500, bali muteekateeka okugyegattako.

Ssentebe wa Bboodi eno, Omuk Dr Evelyn Kigozi Nabakka Kahiigi alaze nga kampuni eno bwekuze mu bbanga lya myaka esatu okutuuka ku bitundu 96 ku buli 100(96%) era neyeebaza nnyo abakozi baayo olw’okubeera abamalirivu mu byebakola.

Bboodi eno ekulirwa Dr. Evelyn Kigongo Kahiigi n’amyukibwa Sam Ntulume amyuka akulira I&M Bank, ate Omuk. Ronnie Mutebi, Omuk. Canon Alice Ddamulira, Omuk. Simon Ssekankya, Omuk. Elijah Zizinga,Omuk. Badru Ntege bammemba ba lukiiko luno.

Ensisinkano eno yetabiddwamu minisita w’ Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. kazibwe Kitooke nabantu abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist