Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, olwaleero atongozza ekitabo kyatuumye ‘Ettofaali’ kyeyawandiise ku nteekateeka y’ ettofaali neebyo byebaayitamu okulikungaanya wali e Mmengo mu Butikkiro.
Katikkiro Mayiga agambye nti ku nteekateeka y’ettofaali weyakakasizza nti abantu ba Buganda basobola bulungi okwekolera ku bizibu ebibanyiga.
“Ekitabo kino kinyonyola ensonga eziwerako, ekyankozesa n’abasuubuzi waliwo Ssebo nga ogwo nagwo gufuuse musango. Katikkiro aleese abasuubuzi e Mmengo eehh lwaki sibaleetayo bo baawa? obukalabakalaba obwa basuubuzi nze bwebubanjagaza. Omusuubuzi tadda mwebyo byakwetoolatoola bwaba ayagala kusuubula menvu nga agenda mu menvu bwegatafuna enkya nga asuubula muwogo,” Katikkiro Mayiga bweyategeezezza
Mayiga yategeezezza nti kawefube w’ettofaali yamalawo okutya n’okwekubagiza mu bantu ba Beene kubanga baali bewunaganya ku kwokyebwa kwa masiro naye nga tebamanyi nti amaanyi g’okugazzaawo bebagalina.
Mu kwogera kwe, Katikkiro Eyawummula Owek. Emmanuel Ssendawula yasiimye Katikkiro Mayiga olw’okwolesebwa kuno era namusaba aveeyo n’enteekateeka endala, obwakabaka busobole okufuna eddwaliro.
Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2013, Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyakwasibwa Ddamula, amasiro ge Kasubi gaali gatutte emyaka 3 nga gateekeddwa omuliro wabula nga empenda zokugazzaawo tezinataba bulungi.
Wayita emyezi mitono nga afunye Ddamula, Katikkiro Mayiga natongoza enteekateeka y’ettofaali, omwali okutalaaga obwakabaka bwonna nga bakunga abantu busitukiremu okuzzaawo amasiro.
Era olukiiko olwalina okuddukanya omulimu guno lwatongozebwa nga lukulemberwa omuk. John Fred Kiyimba FreeMan okukakkana nga ensimbi eziwera zisondeddwa.
Katikkiro yagasseeko nti ssente zino kwebaggya ez’okuzimba bbugwe ku masiro, ezazimba ekizimbe Masengere wamu n’okukola Terefayina ya BBS ate ezaasigalawo nebaziteeka ku mulimu gw’okuddaabiriza ennyumba ya Muteesa e Makerere.
Eyali omuwanika w’ettofaali Gaster Lule Ntakke, yasinzidde ku mukolo guno nalaga nga bwebayita mukusoomoozebwa okungi, Wabula omukwano ogwali guva mu buli nsonda ya Ggwanga, gwakola kyamaanyi okubagumya.
Ate ye Minisita omubeezi wa Gavumenti ez’ebitundu Owek. Daudi Kawuki yategeezezza nga nokutuusa kati, bwewaliyo abantu abakyabanja Katikkiro okuddayo okunona Ettofaali.