Bya Ssemakula John
Bulange –Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, yatongozza abalimisa n’abasindika mu byalo bya Buganda ebyenjawulo bayambeko okulambika abantu ba Kabaka ku kituufu kye balina okukola okusobola okuyimusa omutindo beekulaakulanye.
Bino Kamalabyonna yabyogeredde mu Bulange olunaku lw’eggulo n’ategeeza nti kye batunuulidde kwe kusitula omutindo. “Okuwona obwavu olina kukola kituufu, olina kola ekisaanidde, olina okukola ky’osobola. Abantu abasinga obungi ebitundu 70 bali mu kyalo era omulimu ogukolwa mu kyalo kuba kulima na kulunda.
Enteekateeka yaffe twagala buli kyalo mu Buganda nga kuliko omuntu asobola okubuulira omulala bwe balina emmwanyi ne zifuna.” Katikkiro Mayiga bwe yagambye.
Kaweefube ono Mukuumddamula amuyisizza mukitongole kya BUCADEF era ng’abalimisa bano baakuyambako okubbulula ekirime ky’emmwanyi n’ebirime ebirala. Katikkiro Mayiga yannyonnyodde nti ekimu ku bintu ebisibye Uganda mu bwavu bwe butamanya kituufu kye balina kukola era kikolebwe mu ngeri esoboka awamu n’obukugu.
Minisita w’ebyobulimi mu Buganda, Mariam Nkalubo Nasejje, yategeezezza nti abalimisa bano omulimu gwe balina oluvannyuma lw’okutongozebwa Katikkiro kwe kumalawo enkola y’okukola ebintu Sambalasambala.
Ono yasabye abantu mu byalo okumanya nti bafunye abakugu abagenda okubalung’amya mu bye bakola era n’abakuutira okubeeyambisa.
Ate ye Minisita omubeezi ow’ebyobulimi, Hajji Amis Kakomo, yalaze nti kino kyakoleddwa oluvannyuma lw’okukizuula nti abalimisa ba gavumenti baali tebamala. Okusinziira ku Minisita Kakomo bano bagenda kuteekateeka eby’okulabirako mu bulimi n’amasaza era bakwatagane n’ebibiina by’obwegassi okusobola okukulaakulanira awamu.
Omukugu w’ekitongole kya Private Sector Foundation (PSF) yagambye nti baakugenda mu maaso n’okukolagana n’Obwakabaka nga bayita mu BUCADEF okutendeka abalimisa abalala, kiyambe okukyusa embeera z’abantu.
Oluvannyuma abalimisa baaweereddwa amabaluwa gaabwe agabakakasa era ne bawera okutandikirawo emirimu.