
Bya Gerald Mulindwa
Nakwero- Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza omusiime wa Beene, Sir Gordon Wavamunno olw’okubeera omuyiiya, omutetenkanya era omuwulize eri Nnamulondo n’Obwakabaka ekiseera kyonna.
Okusiima kuno Kamalabyonna Mayiga akulaze akulembeddemu Kabineeti y’Obwakabaka okusisinkana Prof. Wavammuno mu makaage e Nakwero mu Wakiso ku Lwokubiri.
Kamalabyonna Mayiga era yeebazizza Omusiime Wavamunno olw’okugabana amagezi n’abantu abalala nga ayita mu kuwandiika ebitabo n’okubuulirira abantu ku ngeri gyebalina okukwatamu ebyenfuna.
Ow’omumbuga annyonnyodde nti Wavamunno y’omu ku bantu abawagira emirimu gy’Embuga amangu ddala nga Obwakabaka bwakaddawo era n’okutuuka olwaleero kino akyakikola ng’eno yeemu ku nsonga lwaki Nnyinimu yasiima naamuwa ejjinja ery’omuwendo mu 2017.
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yeebazizza Prof. Wavamunno olw’okuwabula kwazze abawa ku byenfuna
Wano Owek. Nsibirwa asomoozezza abeeyita ba “consultant” kyokka nga tebalina yadde webalimira awooleka eky’okulabirako kwekyo kyeboogerako mu bukugu bwabwe, kyokka abantu nga Wavamunno bebuuzibwako era bawa abantu amagezi ku bwereere ate nga bamanyi kyebakola.

Ye Prof. Gordon Wavamunno, alambululidde abagenyi be gyenvudde we n’engeri gyazze atambuzaamu obulamu bwe n’okutuuka ku birungi byatuuseeko okuli eby’obugagga n’Ebitiibwa.
Wavamunno era abalambuzza ekkolero ly’amazzi ga Wava Water n’ebyenkulaakulana ebirala okuli, eddundiro ly’Ente n’ebisolo by’Awaka, ennimiro ez’ebibala n’emmere eriibwa, etterekero ly’ebitabo wamu n’ekkaddiyizo ku bulamu bwe ng’omuntu n’ebirala.

Mu kulambula kuno Kamalabyonna awerekeddwako Sipiika Luwaga Mugumbule, Minisita Nsibirwa, Minisita Mayanja Nkalubo, Minisita Noah Kiyimba, Minisita Anthony Wamala, Owek. Amis Kakomo, Owek. Christopher Bwanika wamu n’abakungu abalala.









