• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga atenderezza omugenzi Martin Luther Nsibirwa

Gambuuze by Gambuuze
May 6, 2022
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga atenderezza omugenzi Martin Luther Nsibirwa
0
SHARES
36
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Makerere –

Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza emirimu gyeyali Katikkiro Martin Luther Nsibirwa olw’okwagaliza eggwanga mu kisaawe ky’ ebyenjigiriza  nga awaayo ettaka okwazimbibwa settendekero wa Makerere asitudde ennyo ebyenjigiriza mu ggwanga n’ensi yonna.

Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde ku settendekero wa Makerere ku Lwokutaano ku mukolo gw’okujjukira Nsibirwa wakati nga Ssettendekero ono yeetegekera okujaguza emyaka 100 bukya litandikibwawo nga yasoose kulambula ennyumba Ssekabaka Muteesa II mweyabeeranga nga kati yafuuliddwa ekkadiyizo.

” Mu July 1945 Nsibirwa yaddamu okulondebwa nga Katikkiro. Ssekabaka Daudi Chwa bweyalaba nga anaatera okuggya omukono mu ngabo yalaamira Katikkiro Nsibirwa okulabirira mutabani we Edward Muteesa. Bwebagenda e Namakomo mu Kyaggwe okumunona addemu afuuke Katikkiro,

Nsibirwa yasooka kugaana kuba baali bamuyisizza bubi naye Ssekabaka Muteesa namujjukiza ekisuubizo kyeyawa kitaawe Daudi Chwa  era nakkiriza okutwala Ddamula. Osanga singa teyakkiriza ddamula Makerere teyandibadde wano leero,” Owek. Mayiga bw’ annyonnyodde.

Okusinziira ku Owek. Mayiga, Nsibirwa yali katikkiro okutuuka mu 1941 lweyakakkibwa okulekulira olw’okukkiriza Nnamasole era Nnaabagereka wa Ssekabaka Daudi Chwa okuddamu okufumbirwa Peter Kigozi. Nasikizibwa Samwiri Wamala naye teyawangalako naggyibwako olwo Nsibirwa naddamu okubeera Katikkiro naye nattibwa mu myezi mitono.

Kamalabyonna  Mayiga asabye abakulembeze okulabira ku Nsibirwa bakole ebiyambira abantu awamu kuba kino kye kisobola okutwala eggwanga mu maaso kuba okusinziira ku byazuulwa Katikkiro Nsibirwa yattibwa lwakwongera kuwaayo ttaka okugaziya ettendekero lya Makerere College.

Owek. Mayiga asiimye abafamire yeyali Katikkiro Martin Luther Nsibirwa olw’okukuuma omukululo gwe okutuuka essaawa ya leero. Ono ategeezezza nti singa tekubadde kulafuubana kwabwe tewandibaddewo nsonga ekubaganyisa birowoozo okumujjukira

Owomumbuga Mayega era ategeezezza nti kya buvunanyizibwa nnyo abakulembeze okwettanira enkola y’ekisakaate eyamba ennyo okugunjula abakulembeze abalimu ensa nokukuza abaana nempisa.

Katikkiro atenderezza ssettendekero Makerere olwokuteekawo ekifo kyebyobulambuzi ekyabbulwamu Ssekabaka Muteesa nti Kano kabonero akalaga nti Muteesa ajjukirwa olwettoffaali lyeyateeka kubyenjiriza byeggwanga.

Ye muwala w’omugenzi Katikkiro Nsibirwa,  Rhodah Nalweje kalema Nsibirwa  yebazizza ssettendekero wa Makerere olw’okutegeka okujjukira omugenzi mu ngeri eno era namutenderaza olw’okwagaliza eggwanga lye libeere n’ebyenjigiriza ebiggumidde wadde nga ye yali teyasoma.

Kalema  ategeezezza  nti Nsibirwa ettaka okutudde ssettendekero Makerere yaliwaayo nga 4 September was 1945 kyokka nattibwa enkeera nga 5 September womwaka gwegumu kyokka ebirabwako e Makerere nga aboluganda bibanyiga ebiwundu nokuberabiza engeri Katikkiro Nsibirwa gyeyattibwamu.

Amyuka Cansala wa settendekero ono, Prof. Barnabas  Nawangwe, atenderezza enkolagana eriwo wakati w’ Obwakabaka ne ssettendekero Makerere nti ebayambye nnyo okugenda mu maaso n’okugaziya ettendekero lino.

Prof. Nawangwe aloopedde Katikkiro bannakigwanyizi abasusse okwagala okubba ettaka lya ssettendekero era Katikkiro namusuubiza okuyimirirawo okulaba nga Makerere esigaza ettaka lyayo.

Katikkiro Nsibirwa yali Katikkiro wa Buganda era yattibwa nga ennaku zomwezi 5 mu September wa 1945 nga wakayita olunaku lumu lwokka nga awadde Makerere ettaka ekitegeeza nti nga ennaku zomwezi 5 omwezi gwa September omwaka guno gijja kuwera emyaka 77 kasookedde Katikkiro Nsibirwa attibwa nga Ono yakubwa masasi mubudde obwokumakya bweyali ava ku kanisa e Namirembe okusaba.

Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka Owokubiri owa katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, eyali Katikkiro Mulwanyamuli Ssemwogerere,  Katikkiro eyawummula Owekitiibwa Dan Muliika, Omukubiriza w’Olukiiko lw’ Abataka,  Minisita avunaanyizibwa ku mirimu egy’enkizo mu Buganda Owek. Daudi Mpanga, Minisita  Noah Kiyimba, ababaka ba Palamenti awamu n’abakungu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.