• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

 Katikkiro Mayiga atabukidde gavumenti  olw’okulemwa okusoosowaza ebigasa abantu mu mbalirira yaayo

Gambuuze by Gambuuze
December 21, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
 Katikkiro Mayiga atabukidde gavumenti  olw’okulemwa okusoosowaza ebigasa abantu mu mbalirira yaayo
0
SHARES
106
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Nkumba – Busiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga agugumbudde gavumenti olw’okulemererwa okusosoowaza ebintu ebikulu ebisinga okusoomoza abantu mu mbalirira yaayo ekintu ekizza enkulaakulana emabega.

Bino Kamalabyonna Mayiga abyogeredde mukitambiro ky’Emmisa mukuziika mutabani w’omugenzi Paul Kawanga Ssemwogerere, Paul Joseph Semakula e Nkumba mu Busiro eyafudde obulwadde bwa kkookolo ku ntandikwa ya wiiki eno.

” Nsaasira nnyo ab’enju olw’okufiirwa omwana ono, ate nga kye baggye bafiirwe mukadde waabwe, Paul Kawanga Ssemwogerere omwezi oguwedde. Tubasabira Omutonzi abagumye. Tusaba Gavumenti, esse nnyo essira ku kutumbula ebyobulamu, bataase abantu. Tekigasa kutwala mulwadde bweru wa ggwanga nga ne wano obusobozi weebuli,”  Owek. Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga asabye gavumenti era eteeke amaanyi mu kutumbula  ebyenjigiriza awamu n’ebyokwerinda okusobola okuleetawo enkulaakulana .

Katikkiro awadde ekyokulabirako kyabasawo bagamba nti bano bayita mu mbeera enzibu ddala naddala abajanjaba kkookolo kyokka nebikozesebwa nebyo nebibeera bitono ddala.

Owomumbuga asinzidde wano nasaba abantu okukoppa ebikolwa bya Paul Joseph Semakula ate bibafuukire ekikubagizo kubanga abadde musajja alimu ensa.

Omukolo guno gwatandise n’ ekitambiro ky’emmisa ekikulembeddwamu Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Bishop Paul Ssemogerere eyayogedde ku mugenzi ng’abadde omuntu w’abantu atasosola mu langi wadde nga kitaawe yali wa Democratic Party.

Okuziika kuno kwetabiddwako Katikkiro eyawummula Owek. Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere bannabyabufuzi okuli  Dr. Kiiza Besigye, Omubaka Muhammad Muwanga Kivumbi, Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Lubongoya, Loodi mmeeya wa Kampala Erias Lukwago banna DP,  Owek. Daudi Mpanga, Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza nabantu abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist