
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga atabukidde Gavumenti olw’okuyingiza ebyamawanga mu nsonga z’ okuggyawo ekitongole ky’ emmwaanyi ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA) era naagisaba obutafuuka kiiso kya mbuzi kubanga eyabitandise bamumanyi bulungi.
Kamalabyonna Mayiga asinzidde mu Bulange e Mmengo nga atikkula abantu b’Omutanda abavudde e u masaza Buddu, Busiro ne Bugerere oluwalo ku Lwokubiri naawera obutasirika ku nsonga z’emmwaanyi kubanga ekwata butereevu ku bantu ba Kabaka.
“Bagamba nti kati ensonga twazitadde obusosoze mu mawanga naye eyatandise ebya mawanga yabadde ffe oba… kino sikyebayita ekiiso ky’embuzi. Ye abaffe ebikwata ku bantu betukulembera ffe tuyinza okubisirikira, kino kikwata ku bantu ba Buganda sisoboa kusirika,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga agamba nti amaka agasoba mu bukadde 2 bayimiriddewo ku mmwanyi awatali kirala nga bwebatyo basaana okuyambibwa mu mbeera zonna nga bwekityo UCDA egwana eyawulibwe ku bitongole ebirala naye esigalewo.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga nga bayita mu nteekateeka ya Mmwanyi Terimba batonzeewo emirimu emitwalo 70 mu Buganda ate nga mu myaka 3 baagala gituuke mu kakadde.
Owek. Mayiga asabye Gavumenti ewulirize abalimi kuba be bannanyini mmwanyi baleme kunyiiga nga abalimi bawagira ekya UCDA okusigalawo era ewe ebirowoozo by’ abalimi ekitiibwa.
Mayiga agamba nti abantu bwebatandika okwekengera Gavumenti nga bagamba nti waliwo ebikusike bandiba abatuufu kubanga basooka kwagala kuleeta tteeka erisiba omulimi alagajalira ennimiro ye, nebaagala okusuubula emmwanyi okukwasa Musigansimbi Pinetti ate jjuuzi baasalawo okuva mu kibiina ekitaba amawanga agalima emmwaanyi awatali kwebuuza ku balimi.
Abaagala okwongera okufuna mu mmwanyi abasabye baagazise bannansi okuzinywa nga Buganda bwezze ekola olwo ensimbi ezivaamu zeeyongere.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti wadde abatunda kkaawa bafunamu okusinga atunda empeke naye ate amazima gali nti kkaawa mu Bulaaya asiikirwa wali nga kasitoma agenda okunywa okusobola okukuuma eddekende .
Ono awadde eky’okulabirako mu mawanga agalima emmwaanyi omuli Brazil ne Vietnam abatunda emmwanyi z’empeke ku katale bwatyo naasaba ab’obuyinza baleme kubuzaabuza bannansi.

Katikkiro Mayiga agamba nti bbo abakolagana ne UCDA nga Obwakabaka, abalimi n’ebibiina by’obweggasi balaba omugaso gwa UCDA neyeewuunya bannabyabufuzi abaagala eveewo gwebakolera.
Mukuumaddamula Mayiga ategeezezza nti basalawo okukunga abantu okwegobako obwavu nga balima emmwaanyi era kino bakikola bayita mu kaweefube wa Mmwanyi Terimba mu 2016 era abantu basitukiramu okuzirima era n’ekitongole ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA) kyasalawo okutta omukago n’Obwakabaka basobole okutuuka wansi ku bantu.
Ono ategeezezza nti wano UCDA yawa abalimi amagezi ku nnima entuufu, omutindo n’ekika ky’emmwaanyi ekirina okulimibwa abalimi okusobola okugifunamu nga balinyisa obungi obulimibwa.
Kamalabyonna Mayiga mu ngeri ey’enjawulo yeebazizza Bannabugerere olw’okulwanirira ebintu bya Buganda, bano abasabye okusigala nga bavumu kubanga abo abatawaanya Buganda kikafuuwe okugiwangula.
Owek. Mayiga yeebazizza abakiise embuga olw’omwoyo gwa Buganda okutafa gwebalaze nga baleeta oluwalo n’okuwagira enteekateeka za Buganda ezitali zimu nakakasa nti mukino bano bazimbye Buganda nebaswaza abagimma Federo kuba balowooza nti Buganda ejja kuzing’ama.









