
Bya Ronald Mukasa
Mmengo Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abavubuka mu masaza ag’enjawulo okubeera abayiiya banogere ebizibu ebiri gyebawangaalira amagezi bafune emirimu n’ensimbi okusobola okwekulaakulanya.
Amagezi gano Kamalabyonna Mayiga agabaweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bwebabadde bamusisinkanye okuwayaamu n’okwongera okubazzaamu amaanyi.
Owek. Mayiga abavubuka bano abasabye bulijjo okutandika n’ekitono kyebasobola nga buluubirira okufuna ebinene kubanga omuntu atasobola kukola bitono tasobola binene.

Mukuumaddamula abakuutidde okuyiga obulungi emirimu era baagale byebakola basobole okugiggyamu ekiramu olwo bakulaakulane n’embeera zabwe zitumbuke.
Ono abalabudde ku kwegayaaza n’okumala gakola mirimu kyagambye nti kijja kutattana emirimu gyabwe bafiirwe akatale n’ensimbi. Bwatyo ababuulidde nti kyamugaso okwenyigiramu butereevu okusobola okuwangaaza byebakola.
Bano kamalabyonna abasabye okunyweza obwerufu n’amazima ku mirimu kyagamba nti nsonga nkulu nnyo mu kukulaakulana kw’omuntu, era obwerufu ye kitunzi wabuli muntu ku mulimu gwakola wabula nga tebeerabidde kubeera bagumiikiriza nga beewala obuggaga obwamangu.
Ye Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone , Owek. Robert Sserwanga ategeezezza nti waliwo essuubi ku nkulaakulana y’abavubuka kubanga bangi bettanidde okulima emmwaanyi era bagifunyemu.
Ono abawadde entanda okubaako emirimu gyebatandika nga gyekuusa ku bizibu ebiri mu bitundu gyebawangaalira bwebaba baagala okufuna ku nsimbi ezitegeerekeka.
Owek. Sserwanga era abasabye bulijjo okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti ez’enjawulo ezireetebwa okusitula embeera zabwe n’okubaggya mu bwavu.
Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Ssejjengo Baker, yeebazizza Beene olw’okukubiriza abavubuka obutava mu byalo kyagamba nti kizibudde nnyo abavubuka amaaso nebaganziya obwongo ku nkulaakulana yabwe.

Ssejjengo era akubirizza abavubuka abakola mu makampuni n’ebitongole eby’enjawulo okubaako ebintu eby’enjawulo byebakola okusobola okwongera ku nnyingiza zaabwe.
Ensisinkano eno yetabiddwamu baminisita abenjawulo okuli Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Owek Cotilda Nakate Kikomeko, Owek. Anthony Wamala, abakiise b’abavubuka mu lukiiko lwa Buganda okuli, Owek Lukwago Rashid, Owek Kizito Mulwana, n’abakulembeze mu biti eby’enjawulo n’abantu abalala bangi.









