
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asisinkanye Ssaabawandiisi w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Richard Todwong nebateesa ku ngeri gyebasobola okukolaganamu okutumbula embeera z’abantu mu Buganda ne Uganda.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu era nga Katikkiro Mayiga abadde awerekeddwako Minisita w’Amawulire era Omwogezi wa Buganda, Owek. Israel Kazibwe Kitooke.
“Tufunye omukisa okwogera ku nsonga endala nnyingi naddala ezikwata ku kubangula abavubuka bayige emirimu, twogedde neku nteekateeka endala zetulina ng’ Emmwaanyi Terimba ez’okulwanyisa obwavu nga njagala gavumenti etuwagire kuba ayamba abantu bonna awatali kusosola,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.

Mukuumaddamula agamba nti era batunuddeko ku luuyi lw’ebyobulamu kuba Buganda ebadde egema Corona, okulwanyisa omusujja gw’ensiri, okukung’aanya omusaayi ate nga ne Beene ye Munyeenye y’okulwanyisa Mukenenya nga singa wabaawo enkolaganira awamu omuntu wa bulijjo yabeera aganyulwa.
Ye Ssaabawandiisi Todwong yeebaziza Katikkiro Mayiga olw’okulwana okulaakulanya abantu era nasuubiza okukolaganira awamu mu nsonga z’ebyobulimi, eby’obulamu awamu n’okutumbula obuyonjo mu bantu.
Todwong agamba nti eggwanga liyimirira ku masiga asatu okuli erya Gavumenti, eddiini awamu n’obukulembeze obw’ensikirano nga bwekityo balina okubeera nti batambulira wamu.
Ono akakasizza nti gavumenti terina mbiranye yonna ne Buganda era kino kyeeyolekera bulungi mu ngeri Katikkiro Mayiga gyabadde ayaniriza buli muntu okugabana ebirowoozo n’okulaba eggwanga bwerisobola okugenda mu maaso.










