Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye eyawangula engule ya Nnalulungi w’ebyobulambuzi mu Buganda, Winfred Tebeesigwa awamu n’abamuddirira nabawa entanda ku ngeri gyebasobola okutambuzaamu obulamu.
Ensisinkano eno ebadde mu woofiisi ya Katikkiro e Bulange Mmengo ku Lwokutaano.
“Obulungi obw’okungulu bulinga ekimuli era buwotoka naye obulungi obw’omutwe ne mu mutima bwo bubeera era bukula buli budde. Kati mwe abawangula mulina okukitwala nti mufunye omukisa okwekulaakulanya ng’ abantu,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Katikkiro Mayiga, bano abawadde amagezi okukozesa obulungi obw’omutwe basobole okukozesa omukisa gwebafunye era beewale abantu abaagala okubakozesa olw’ obulungi obw’okungulu kuba bandimaliriza nga balidde eggi nebeesubya omuwula.
Abasabye okweyambisa obulungi bw’oku mubiri okuliisa obulungi obuli mu mitwe n’emitima nga babeera ekifananyi ekirungi basobole okwegombesa abalala era batumbule n’ebyobulambuzi mu ggwanga.
Nnalulungi Tebeesigwa ategeezezza nti mwetegefu okulaakulanya Obwakabaka nga ayita mu kutumbula eby’obulambuzi esobole okulaakulana kuba Buganda nsi ngagga.
Asuubizza okuteeka ennono mu bavubuka basobole okumanya n’okutegeera ennono z’Obwakabaka bwa Buganda basobole okugenda mu maaso.