• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga asisinkanye Ambasada wa Bungereza omuggya, baakwongera enkolagana

Gambuuze by Gambuuze
January 15, 2025
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga asisinkanye Ambasada wa Bungereza omuggya, baakwongera enkolagana
0
SHARES
67
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Bulange – Mmengo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asisinkanye Ambasada wa Bungereza omuggya mu Uganda, Lisa Chesney nebakkiriziganya okwongera okutambulira awamu okutumbula embeera z’abantu.

Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu era olutuuse embuga abakulu bombi nebesogga akafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, Katikkiro Mayiga agambye nti bakwongera okusitula abavubuka mu Buganda ne Uganda era bateeke essira ku miramwa egikulaakulanya abantu ba Kabaka.

Mukuumaddamula Mayiga  amulambuzizza ekizimbe kya Bulange n’ekisenge ky’Olukiiko ekiteesezebwamu era namuyitira mu byafaayo byakyo ebitonotono.

Wano Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bulina enkolagana nnungi ne Bungereza okuviira ddala ku mirembe emikadde nga ne ggyo ly’abalamu Omulangira Edward  Duke owe  Edinburgh yakiika Embuga mu March w’omwaka oguwedde era nabaako endagaano gyakola ne Buganda.

Katikkiro Mayiga anokoddeyo eky’omulembe guno Omutebi okuba nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka yaguwa bavubuka nga kino kitambula bulungi n’ebyo Bungereza byeyawera okussaako essira ng’ekiise embuga.

Ye omubaka wa Bungereza mu Uganda, Lisa Chesney akaatirizza obukulu bw’enkolagana yaabwe wakati wa Bungereza ne Buganda naddala mu kukuuma obutonde bwensi n’abavubuka.

Kinajjukirwa nti Ambasada Lisa Chesney ye mubaka wa Bungereza mu Uganda omuggya  nga ekifo kino yakikwasibwa  15 October,  2024 nga adda mu bigere bya  Kate Airey.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist