Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asisinkanye Ambasada w’omukago gwa Bulaaya mu Uganda, Atillio Pacific awamu n’Omumyuka we, Anna Merrifield.
Ensisinkano eno ebadde mu Bulange e Mmengo akawungeezi ka leero ku Lwokubiri. Atillio ategeezezza Katikkiro Mayiga nti bazze okumanya enteekateeka ez’enjawulo Obwakabaka ze bulina okutumbula embeera z’abantu era nga baagadde okumanya we butuuse mu by’enjigiriza, Okukuuma obutonde bw’ensi, ebyobulamu wamu n’ebirala.
Mukuumaddamula ababuulidde nti ekirwadde kya Ssennyiga Corona kisannyalazza nnyo emirimu mu Bwakabaka naye bakyali bamalirivu okuggusa enteekateeka ezinaayamba okutumbula embeera z’abantu ba Ssaabasajja Kabaka.
Ambasada asuubizza okufunira Obwakabaka bannamikago okutumbula ebyobulambuzi, okuwagira enteekateeka z’ebyobulamu wamu n’ebyenjigiriza.
Atillio asabye Obwakabaka okukuuma ennyo ebifo by’ebyafaayo kubanga emirembe egirijja kwe giritegeerera obulungi bw’ebifo ebyo nga bikuumiddwa bulungi wamu n’okuyamba okubamanyisa obuvo wamu n’ebyafaayo byabwe.
Bano Katikkiro abasiimye olw’enkolagana ennungi gye balina n’Obwakabaka bwa Buganda era nabo ne beeyama okugitwala mu maaso.