
Bya Ssemakula John
Seattle – Amerika
Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde abantu amagezi naddala abagenda ebunaayira okufuna okutendekebwa era bwebafuna emirimu bagikole mu butuufu basobole okugiganyulwamu.
Bino Mukuumaddamula abyogeredde mu nsisinkano gyabaddemu nabamu ku bakulira ekitongole ekidduukirira abantu mu ngeri ezenjawulo ki Bill and Melinda Gates Foundation e Seattle mu America gyali ku mirimu emitongole.
Owek. Mayiga bw’abadde asisinkanye Ssenkulu w’ekitongole kino, Mark Suzman mu kafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire era kitegeerekese nti bakkaanyiza okwongera okugaziya ku nkolagana eziyamba abantu ba Ssaabasajja Kabaka ne Uganda.
Owek. Mayiga agamba nti ensisinkano eno ya muggundu kubanga ekitongole kino kiri ku mulimu gw’okuyamba abantu okuvvuunuka embeera ezitali zimu n’Obwakabaka omulamwa gwebuliko kale kibadde kyankizo nnyo okubasisinkana.

Oluvannyuma Katikkiro Mayiga asisinkanye akulira emirimu gy’ekitongole kino mu Afirika , Paulin Basinga ng’eno era abadde awerekeddwako Minisita wa Gavumenti ezebitundu Owek. Joseph Kawuki ng’Omulangira Samuel Kateregga Ssenyimba akulira ebyokulaakulanya ebyobulimi mu kitongole kino yabatembeese.
Wano wasinzidde naawa abantu amagezi naddala abagenda ku mawanga okufuba okulaba nga bagendayo ngabalina obuyigirize, okutendekebwa okumala wakati mukukola emirimu nobwesimbu kubanga basobola okutuusa Buganda bweteba Uganda ku birungi bwatyo neyebaza Omulangira Kateregga Ssenyimba Samuel.
Akulira eby’emirimu mu Afirika mu kitongole kino, Paulin Basinga asuubizza okubangawo enkolagana eyomuggundu n’Obwakabaka wakati mukuyamba abantu b’Omutanda mu ngeri ezitali zimu.
Kinajjukirwa nti, Ekitongole kino kiyamba abantu mu ngeri ezitali zimu mu byobulamu, ebyobulimi, n’ebirala eby’enkulaakulana nga kiyambyeko nnyo okuyambako okulwanyisa obulwadde bwa Polio mu mawanga g’Afirika ag’enjawulo.
Bill and Melinda Gates Foundation yatandika mu mwaka gwa 2000 ngessa obuwumbi bwa ddoola mukaaga mu byobulamu, ebyenjigiriza, ebyobulimi, abakyala, abaana nebirala mu kkowe ero era bebaddukanya kkampuni kkalimagezi eya Microsoft.

Kati olunaku olwenkya Owomumbuga asitula okuva mu Seattle Tacoma okwolekera San Francisco okutuuza abamu ku baami ba Kabaka abaalondebwa era omulimu gwegumu gwagenda okukola mu Los Angelis nga tanagenda Boston mu kulamaga kwabanna Uganda abawangaalira eno.
Katikkiro Mayiga abadde awerekeddwako Omulangira David Kintu Wasajja, Owek. Joseph Kawuki, omwami wa Kabaka e Seattle Owek. Moses Mayanja Ggayi Lule, Omuk. David Ntege, ne Allen Namukasa Kafuluma.









