
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abaami b’amasaza mu Bwakabaka nabakuutira okunyweza enkola y’omulembe omuggya omuli obuyiiya, obunyiikivu n’okukozesa obwerufu n’obwagazi okusobola okutwala emirimu gya Nnyinimu mu maaso.
Bino abyogeredde asisinkanye abaami b’amasaza abaggya okuva e Rwenzori ne Busoga abazze okukiika embuga mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.
Owek. Mayiga abeebazizza okukunga abantu okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka, era boongere okubakubiriza okulima emmwaanyi bagobe obwavu era basobole okwekulaakulanya.
Mukuumaddamula era abeebazizza olw’omulimu gwebakoze okuddaabiriza embuga z’Amasaza, ne mbasaba boongere okuziyonja zirabike bulungi okusobola okutuukana n’ekitiibwa kya Buganda.

Owomumbuga abayitiddemu ku miganyulo egyava mu lugendo lwa America omwali okubangawo emikago okutwala Buganda mu maaso era nabasaba okulaba nti abantu bamanya ebifa embuga baleme kugendera ku bulimba obutambuzibwa abantu ab’enjawulo abenoonyeza ebyabwe.
Ye Ssaabawolereza wa Buganda era minisita wa gavumenti ezebitundu Owek. Christopher Bwanika yeebazizza Katikkiro olw’okubasakiranga n’okufunira Buganda emikago egizimba.

Ssentebe wolukiiko lw’ Aabaami b’ Amasaza, Ppookino Jude Muleke yeebazizza Katikkiro olw’ omukisa guno era neyeeyama okwongera okwagazisa abantu enteekateeka za Buganda okusobola okubaggya mu bwavu.









