Bya Ronald Mukasa
Katwe – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Abaami b’ eggombolola mu Buganda okukuuma obwesige Ssaabasajja Kabaka bweyabataddemu nga ayatula amannya gaabwe okumulamulirako Ggombolola ze mu Masaza ga Buganda 18.
Okusaba kuno Kamalabyonna akukoledde ku Muganzirwazza e Katwe ku Lwokusatu bw’abadde asisinkanye Abaami b’e Ggombolola okubalambika ku buvunaanyizibwa obuboolekedde.
Kamalabyonna Mayiga ategeeezzza nti ssi kyangu Kabaka okukwatula erinnya olw’abantu abangi abali Buganda, naye bwakwatula kitegeeza oli wa njawulo mu balala nga noolwekyo kyetaagisa omwami okukola ebitaswaza Ssaabasajja Kabaka.
Ono Abaami abalaze obuvunaanyizibwa omwami we Ggombolola bwalina omuli, okimanya ebifa mu Bwakabaka n’ebweru w’obwakabaka kubanga abantu mu maggombolola balowooza nti abaami be bamanyi ebifa embuga.
Owek. Mayiga abakuutidde okusoma ebyafaayo by’obwakabaka, bamanye buli kanyomero akali mu Ggombolola zebatwalae abantu baleme kubayisaamu maaso.
Kamalabyonna era abakubirizza bakuume eby’obugagga by’obwakabaka ebiri mu Ggombolola zaabwe, bafube okussa pulojekiti ez’enjawulo ku mbuga zireme kutwalibwa bannakigwanyizi.
Ku nsonga yeby’obufuzi gyetwolekedde mu bbanga ttono mu maaso awo, Katikkiro abasabye okwegendereza bannabyabufuzi abagenda okwagala okubeekwata nga banoonya obuwagizi.
Wano abasabye okusembeeza abo abawagira ensonga Ssemasonga n’okuwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ekitiibwa.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Owek Joseph Kawuki, aloopedde Katikkiro ng’ Abaami bwebongedde obunyiikivu mu mirimu gyobwakabaka.
Ono awadde eky’okulabirako mu luwalo nagattako lwalinnya ebitundu 50% omwaka oguwedde, bakoze pulojekiti n’emirimu egitali gimu ku mbuga zaabwe, anokoddeyo Ggombolola ye Kalungu ne Kalisizo, era abaami bangi babadde basaale mu kukuuma eby’obugagga bya Kabaka n’okubikulaakulanya.
Ensisinkano eno ebeerawo buli mwaka n’ekigendererwa eky’okulambika abaami mu buweereza bwabwe wamu nokuwuliriza ensonga zebaloopa embuga eziri mu bitundu byabwe.