Bya Stephen Kulubasi
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, asisinkanye bannakibiina kya Public Relations Association of Uganda (PRAU) era n’asaba bannayuganda okwawula eby’ensonga ku bintu ebitalina makulu bwe baba baakugenda mu maaso.
Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde asisinkanye ab’ekitongole aba PRAU leero ku Lwokubiri e Bulange Mmengo.
Abakulu mu PRAU bategeezezza Katikkiro Mayiga nti bakkiriza nti Obwakabaka bukulu nnyo mu Uganda kuba bukola kinene okutereeza embeera z’abantu nga bayita mu kutumbula ebyenkulaakulana, ebyenjigiriza, ebyobulamu wamu n’ensonga endala.
Bano basuubizza Katikkiro Mayiga okukolagana n’Obwakabaka, okutambuza amawulire amatuufu gasobole okutuuka ku bantu
Mukuumaddamula abategeezezza nti abayivu mu by’okulung’amya abalinga bo, Obwakabaka bwa Buganda bwe beetaaga okusobola okutuusa obubaka mu bantu ate ne babuganyulwamu. “Abakola omulimu gwammwe bakulu mu kubunyisa amawulire n’okutumbula ebitongole era atabalina abeera yeesimidde ntaana.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Owoomumbuga akinoganyizza nti tewali asobola kumanya kintu okuggyako nga waliwo amubagulizzaako era wano w’asinzidde n’agamba nti mu kiseera kino nga Buganda yeenyigira mu by’enkulaakulana eby’enjawulo, basobola okuwa abantu amawulire amatuufu babataase ku bulimba obutambulira ku mutimbagano.
Omukulembeze wa PRAU , Stephen Mwanga, yeebazizza Obwakabaka olw’okwenyigira mu bintu ebitumbula obulamu bw’abantu omuli eby’enjigiriza, ebyobulimi, obujjanjabi n’ebirala bingi era ne yeeyama okukwatagana n’Obwakabaka okusobola okubaako kye bagattako.
Mwanga ategeezezza nti mu nkolagana yaabwe ne Buganda, essira bagenda kuliteeka kukukwasaganya mpuliziganya wakati w’Obwakabaka n’abantu n’okutumbula obulamu bw’abantu naddala abakyala.
Asabye abantu bayige okukozesa obulungi emikutu gimugattabantu kubanga tegisobola kwewalibwa naye abantu batandike okwefumiitiriza ku bye balaba oba bye bawulirayo. Bano era baguze Satifikeeti okuwagira emirimu mu Bwakabaka.
Ensisinkano ekulembeddwamu ab’ekitongole kya Kabaka ekivunaanyizibwa ku kutumbula ebitongole bya Ssaabasajja ekya Majestic Brands era yeetabiddwako Minisita w’amawulire Noah Kiyimba, abakungu okuva mu bitongole ebyenjawulo omuli; CBS, BBS Terefayina, Gambuuze Online ne BICUL.