Bya Stephen Kulubasi
Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, agguddewo ekirabo ky’emmere ekyatumiddwa sta cafe and lounge ekisangibwa ku ssundiro ly’amafuta erya stabex okumpi n’Olubiri lwa Kabaka e Mmengo n’asiima enkolagana kkampuni eno gy’erina n’Obwakabaka.
Bw’abadde atongoza ekirabo ky’emmere kino leero ku Lwokusatu e Mmengo okuliraana Olubiri, Kamalabyonna bano abeebazizza olw’okusasula obulungi obusuulu.
“Nzize wano olwenkolagana ennungi gye mulina n’Obwakabaka era mwebale kubeera bapangisa abalungi ku ttaka lya Kabaka.” Katikkiro bwe yagambye era n’akunga abantu abakozesa ettaka lya Kabaka okugenda mu Buganda land board baweebwe empapula entuufu ezinyweza obusenze bwabwe.
Owek. Mayiga era yatenderezza aba Sta Cafe olwenkulaakulana kuba ziyamba okutondawo emirimu wamu n’eggwanga okufuna omusolo olwo empeereza za gavumenti ne zisobola okutuuka wansi mu bantu.
Mukuumaddamula Mayiga asinzidde wano n’asaba bannamikago okwongera okweyunira Obwakabaka bwa Buganda okufuna akatale kuba Buganda erina abantu ate abantu be bakola akatale.
Abakozi b’ekifo kino Katikkiro abakuutidde okukola nga bbizineesi eno nga bannanyiniyo kuba singa banaalagajjala n’egwa nabo bajja kwesanga nga tebakyalina mirimu.
Akulira bakitunzi ba Stabex international, Otim Gerald era akiikiridde Ssenkulu, yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okukkiriza okubakyalirako wamu n’okubazzaamu amaanyi.
Omukolo guno gwetabiddwako baminisita n’abakungu b’ebitongole bya Kabaka, abakulembeze b’ekitundu abakulembeddwamu Kaggo Agnes Kibirige Ssempa, ne bannamikago ba stabex international. Otim yategezezza ababaddewo nti kkampumi yaabwe yakakolagana n’Obwakabaka bwa Buganda okumala emyaka 11 ng’eyita mu kitongole kya Buganda land board.
Ono yagambye nti ekitongole kino kye kyabawa liizi eyasookera ddala okutuusa bwe bawezza liizi eziwera omusanvu wabula nga tebafunangamu buzibu bwonna.
“Bw’oba oli mumalirivu okutuukiriza ebigendererwa byo, Obwakabaka bwa Buganda bwetegefu okukwatizaako.” Otim bw’agambye.