• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga asiimye emirimu egikoleddwa Omusumba Ssemogerere

Gambuuze by Gambuuze
January 19, 2022
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga asiimye emirimu egikoleddwa Omusumba Ssemogerere
0
SHARES
53
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kasana – Bulemeezi

Katikkiro Charles Peter Mayiga asiimye emirimu egikoleddwa abadde Omusumba wa Kasana Luweero mu Bulemeezi, Paul Ssemogerere nga kati ono yalondeddwa nga Ssaabasumba omuggya ow’essaza ekkulu erya Kampala.

“Oba nkulise bannakasana Luweero oba mbasaasire, naye byonna bikola okubakulisa okuba ettaka eggimu  n’okubasaasira okuviibwako Omusumba. Naye nange nneebaza Ssaabasumba omulonde olw’emirimu gy’akoze mu Kasana Luweero.” Owek. Mayiga bw’agambye.

Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku kyalo Kaswa mu maka ga Dr. James Kyeyune leero ku Lwokusatu.

Ono ategeezezza nti Omusumba Ssemogerere amanyiddwa ng’omuntu w’abantu ekintu ekizibu ennyo ku abo ababeera mu bifo by’obukulembeze kuba obuvunaanyizibwa bubeera bungi.

Okusinziira ku Owek. Mayiga, amusiimye olw’okutumbula ebyenjigiriza n’okulyowa emyoyo nga byonna bituukiddwako olw’obutetekanya n’obwetowaze bw’Omusumba ono kuba essaza lino libadde likyali tto.

“Obwetowaze buzibu nnyo ng’oli mukulu kale bw’osanga omuntu omukulu nga mwetowaze,  omwebalizaako Katonda,” Owek. Mayiga bw’agasseeko.

Owek. Mayiga era amwebazizza olw’okwagala ennyo Obwakabaka bwa Buganda naddala mu nteekateeka ez’enjawulo ezibadde mu ssaza Bulemeezi era abadde akwatizaako Kkangaawo obutakoowa okusobola okuzza essaza Bulemeezi ku ntikko.

Katikkiro era asabye abantu okweggyamu endowooza y’okwagala okuyambibwa buli kaseera era n’awa bannabulemeezi amagezi okwesonyiwa enjogera y’okuba ng’olutalo lw’abakosa n’abasa okujjukira ebyafaayo naye tebabiganya kubafuga.

Ku lulwe, Ssaabasumba omulonde asiimye bannaluweero naddala abavubuka olw’okukolagana obulungi naye ne basobola okutambuza emirimu gy’Omukama.

“Abavubuka mubadde temwetaaga miguwa era mukoze bulungi nnyo emirimu gy’Omukama ne tutambuza bulungi essaza. Eno teriiyo bantu bakadde nnyo naye bonna abaliyo baasiima.” Ssaabasumba omulonde bw’ategeezezza.

Omusumba Ssemogerere bano abasuubizza nti akyali mu kitundu kino era bajja kusigala nga batambulira wamu kuba Obusumba bw’essaza ekkulu erya Kampala  bukwatagana bulungi n’obwe Luweero.

Bino we bijjidde ng’Obusumba bw’essaza ekkulu erya Kampala butegeka omukolo gw’okutuuza Ssaabasumba Ssemogerere mu butongole ku Lwokubiri nga 25/01/2022 ng’omukolo gwakubeera ku Lutikko e Lubaga.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist