Bya Francis Ndugwa ne Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, asabye abakulembeze okusoosowaza enfuga ey’amateeka kisobozese eggwanga Uganda okukula.
Okusaba kuno, Owek. Katikkiro akukoze asisinkanye akulira ekibiina ekitaba bannamateeka ekya ‘Uganda Law Society’ abakulembeddwa Pulezidenti waakyo, Phionah Wall Nabaasa ne banne leero ku Lwokusatu mu Bulange e Mmengo.
Owek. Mayiga ategeezezza nti bangi balina endowooza nti bamusigansimbi be bajja okuyamba eggwanga okukulaakulana naye ye alowooza nti omulaka gulina kuteekebwa ku nfuga egoberera amateeka.
“Ne bwetunaaleeta bamusigansimbi abenkana wa, nga tewali bukulembeze butambulira mu mateeka, tetujja kuwona bwavu.” Mayiga bw’agambye.
Ono asabye ekibiina kino okuteeka poliisi, ebitongole by’ebyokwerinda n’ekkooti ku nninga bikole emirimu gyabyo awatali kulinnyirira ddembe lya buntu era wabeewo obwenkanya.
Mayiga agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bukkiririza nnyo mu nfuga entambulira ku mateeka kubanga n’ebizibu ebyagwa ku Buganda mu 1966 byajja lwakuba tewaali nfuga y’amateeka.
Owek. Mayiga alabudde abasajja obuteeyibaala nga balowooza nti be balina okufuga abakazi kubanga nabo bafungizza era nga bafunye ebifo eby’enkizo mu bitongole n’amakampuni ag’enjawulo. Ono asuubizza okukwatagana n’ekibiina kino okulaba ng’abantu ba Ssaabasajja Kabaka bafuna obwenkanya wonna we bali.
Pulezidenti wa Uganda Law Society, Phionah Nabaasa, ategeezezza nti ekimu ku bintu bye bataddeko essira kwe kulaba ng’abantu abateesobola bafuna bannamateeka abayinza okubayambako ku bwereere naddala mu bifo by’omu kyalo era kikendeeze n’omuwendo gw’abantu abakandarira ku alimanda.
Nabaasa asiimye Katikkiro Mayiga olw’okulemberamu okuteekawo Buganda Law Chambers, okusobola okuteekawo obwenkanya eri abantu ba Buganda.
Ono yeebazizza Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda olw’okukulemberamu olutalo lw’okusitula omwana omuwala n’okulaba ng’eddembe lye terityoboolwa.