Bya Gerald Mulindwa
Bulange
Singa nze nali nsalawo, omuntu gwenandisinze okuwa omusaala omunene ye musomesa. Bwoba olowooza nti ndi munnamateeka mulungi ddayo otunuulire omusomesa, okutandikira ddala gyenava gyenasomera Pulayimale e Butale eri mu Buddu.

Bwatyo Katikkiro Charles Peter Mayiga, bwategeezezza nga asisinkanye abasomesa, abakulira amasomero g’Obwakabaka, abakulu ba Boodi wamu ne bannabyanjigiriza abalala e Bulange ne ku mutimbagano mu nkola ya Zoom olwa leero ku Lwokusatu.
Mukuumaddamula anyonyodde nti omuntu yenna alabika okubeeramu ensa gubeera mulimu gwa basomesa n’abazadde.
Mayiga agamba nti, eggwanga bweriba lyagala okutereera lirina kusooka kutereeza ngeri gyerilabamu abasomesa n’ensasula yabwe. Yalaze okutya olw’ abantu okusooka okulemererwa amasomo amalala nebalyoka basindikibwa mu busomesa nategeeza nti omusomesa alina kubeera mugezi.
Ono era alabudde abasomesa okukimanya nti abaana babatwala nga kyakulabirako era nabasaba balage ekifanaanyi eky’enjawulo.
Mukuumaddamula asabye bannanyini bizimbe ebipangisibwa okuli amasomero bateese ne bannanyini masomero bakkanye galeme kutwalibwa kubanga buli wamu embeera mbi.
Ku nsonga z’abaana abali ewaka, Mayiga akuutidde abazadde okulondoola ennyo abaana gyebagenda ku mirimu emitonotono era beewale n’ebikolwa eby’obutabanguko mu maka singa babeera basabiddwa ssente ng’ate tebaziriwo.
Ono era alabudde abaana abasindikibwa okukola obulimu obutonotono nga okutunda obukookolo bafunemu ssente obutakyawa kusoma lwa ssente kubanga COVID19 wakiseera buseera.
Mu kwogera kwe, Minisita w’ebyenjigiriza mu gavumenti ya Ssaabasajja Dr. Prosperous Nnankindu, agambye nti abasomesa, abaana n’abazadde bwebasobeddwa mu kaseera kano olw’embeera ya COVID19 naye ate nga essuubi okusinga balirina mu gavumenti ya Kabaka okusobola okubalambika.

Bino byaddiridde Omukungu Micheal Kironde eyayogedde ku lwa banne, okutegeeza Katikkiro nga abasomesa bwebatakyalina kyakulya, abamu bagobebwa mu nnyumba ate abalala n’obufumbo bwabwe bukyankalanye nga nabalina amasomero bbanka zigatwala.