Bya Ssemakula John
Kampala
Mukuumaddamula wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga asabye abantu okukyusa endowooza ku masomo g’ebyemikono naddala nga bagiyita ebyabatasoma kuba bano be beesigamyeko enkulaakulana y’ensi.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoze asisinkanye aba Directorate of Indsutrial Training ku mbuga enkulu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
“Abalina PHD si be bakuza ensi, ensi zikula singa abantu baazo abasinga obungi balina obukugu obwetaagisa mu bulamu obwabulijjo. Okulima weetaaga omuntu alina obukugu wadde abalina PHD mu kulima bayinza okubaawo naye weetaaga ono alina obukugu mu mmwanyi.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Katikkiro Mayiga agamba nti emirimu nga; okuzimba, okubajja, okutunga n’okwokya ebyuma, byetaagisa nnyo ensi bw’ebeera yaakugenda mu maaso n’okukulaakulana kuba abayivu bokka tebamala.
Ono annyonnyodde nti abantu abayita mu byemikono, bamugaso nnyo kuba ensi zonna tezikula lwa balooya oba bayinginiya. Bw’atyo n’asaba abantu okujjumbira amasomo gano kiyambeko n’okumalawo ebbula ly’emirimu.
Owoomumbuga akikkaatirizza nti omutindo gw’ebintu ebikolebwa gwetaaga bukugu n’awa ekyokulabirako ky’ekizimbe ekyagudde nti wandibanga waabuzeewo obukugu mu ngeri emu oba endala.
Kamalabyonna akakasizza nti okusoma kulungi era awagira abavubuka okusoma mu ngeri yonna naye abavubuka basaanye okuba n’obukugu. Bw’atyo asiimye enteekateeka ya DIT n’ategeeza nti ke kaseera Obwakabaka okukola omukago n’ekitongole kino nga buyita mu ttendekero lya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education.
Akulembeddemu abakungu ba DIT, Patrick Byakatonda yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okubakyaza era ne yeebaza Obwakabaka olw’okwagazisa abantu emirimu gy’emikono omuli okulima n’okulunda.
Byakatonda akakasizza nti beetegefu okukolagana ne Buganda okusobola okutumbula ebyemikono, kiyambeko okumalawo okusoomoozebwa abavubuka kwe basanga nga bamaze emisomo.
Ensisinkano eno yeetabiddwamune baminisita; Owek. Mariam Maynja Nkalubo minisita oweebyettaka, obulimi n’obulunzi, Obutondebwensi n’obwegassi wamu n’omubeezi avunaanyizibwa obutereevu ku by’obulimi, Owek. Hajji Amis Kakomo, n’Omuk. Roland Michael Ssebuufu ssenkulu wa BICUL.