
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye bannamateeka bayambeko bannayuganda okutegeera obulungi amateeka kuba geetaagisa mu buli mbeera kiyambeko okukendeeza ku buzzi bw’emisango n’okulwanirira eddembe ly’obuntu.
Bino Owek. Mayiga abyogeredde mu Bulange e Mmengo ku Mmande bw’abadde asisinkanye bannamateeka abeegattira mu kibiina kya Uganda Christian Lawyers fraternity ababadde bakulembeddwa Ann Twinomugisha Muhairwe, Omumyuka wa Kaliisoliiso wa Gavumenti okulaba bwebasobola okukolagana obulungi ne Buganda.
“Bangi tebamanyi nti buli mbeera waliwo amateeka agafugawo, eky’okubiri abantu bangi tebamanyi ddembe libaweebwa mu mateeka. Abatali bannamateeka tebalina njawulo wakati wa Ssemateeka n’amateeka amalala,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga ategeezezza nti mulimu gwa buli munnamateeka okulaba nti amateeka gagobererwa mu buli kimu abantu kyebakola wadde nga abantu ba bulijjo balowooza nti baliwo kuwolereza bazzi bamisango awamu n’okukola ensimbi.

Ono asabye bannamateeka bano bulijjo okubeera abesimbu, abalumirirwa abo bebakolera emirimu, okugumiikiriza awamu n’okukola ennyo era basobole okuweereza mu bantu bebabeera nabo kuba mukutendekebwa kwabwe babeera bamanyi.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, waliwo okusomoozebwa kw’okuyaayaanira obugagga olw’omululu mu balooya n’abakulu mu kitongole ekiramuzi ekitabudde omulimu gwa bannamateeka wakati mukugezaako okunoonya eby’obugagga wabula nasaba obugagga babunoonye nga beesigama ku bukulisito kyebugamba.
Eyayogedde kulwa ‘Uganda Christian Lawyers Fraternity’, Omulamuzi Muwonge, ategeezezza nti bazze bakolagana n’ebitongole by’ Obwakabaka nga CBS okubangula abantu mu by’amateeka era bangi baganyuddwa mu nteekateeka eno.
Omulamuzi William Muwonge ategeezezza nti waliwo okusomoozebwa kwebasanga nga bataputira abantu emisango naddala egyo egirimu okugaba ebibonerezo kuba waliwo ebigambo ebirema abantu okwatula olw’okutya okumansa entungo n’ okuwemuka nekibalemesa okufuna obwenkanya kuba abamu ku balamuzi tebamanyi nkola ya wano.

Ye Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika, abeebazizza olw’okukuuma ekitiibwa ky’Obwannamateeka nga baweereza abantu mu bwesimbu nabasaba okwongera okulwanirira enfuga ey’ amateeka ebukale mu ggwanga.
Eyaliko omukulembeze w’ekibiina kino Edward Kato, agambye nti beebamu ku bannamateeka abalwanirira eddembe ly’abuntu ba Beene abaasibwa nga Kabaka alemeseddwa okugenda e Bugerere mu 2009 nga baliko n’abalala bangi bebazze batuusaako obuyambi.
Ensisinkano eno egendereddwamu okunyweza enkolagana n’Obwakabaka n’okulaba engeri gyebasobola okwongera okutuusa obuyambi bw’amateeka ku bantu ba Beene.









