• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga asabye bannabyabufuzi okufaayo ku bizimba abantu baleme kubaggya ku mulamwa

Gambuuze by Gambuuze
August 13, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga asabye bannabyabufuzi okufaayo ku bizimba abantu baleme kubaggya ku mulamwa
0
SHARES
58
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Luwala – Kyaddondo

Kamalabyona Charles Peter Mayiga akubiriza bannabyabufuzi mu ggwanga okufaayo okulaba nga beemalira ku bintu ebiyamba abantu mu bitundu byebatwala okusinga okudda kwebyo ebibaggya ku mulamwa nga tebiyamba bebakulembera.

Bino Owek. Mayiga abyogeredde mu Ssaza Mawokota bwabadde atongoza sizoni eyokubiri eya Mmwanyi Terimba ku Lwokubiri.

Kamalabyonna e Mawokota atuuseyo ku ssaawa ssatu ez’okumakya era atandikidde mu Ggombolola ya Mutuba I Mpigi ku kyalo Konkoma gyasanze omulimi Pius Muganga  ng’ ono alimira ku Yiika z’ettaka 10.

 Ono akubirizza abavubuka okubeera abagumikiriza beeyambisa ettaka ettono lyebalina balime emmwanyi basobole okwekulaakulanya era beegobeko obwavu.

Bw’avudde eno Owek. Mayiga atuuseeko ku Kyalo Bwanya mu ggombolola ya Ssabawaali Mpigi okulambula omulimi w’e mmwannyi Stephen Ssemugera nga ono takoma kulima mmwannyi zokka wabula n’okulunda Nkoko ekintu ekimufudde eky’okulabirako eri abavubuka .

 Oluvannyuma Kamalabyonna Mayiga oluvudde wano  olwavudde eno agenze ku kyalo Busero  nalambula ekyuma ekisunsula emmwanyi.

Mungeri yemu kamalabyona awuubyeko olubu lw’ekigere ku kyalo Kanyike Mawokota mu maka ga Dr Lawrence Mulindwa nga eno gyagabulidde abantu bakabaka ekyemisana.

 Owomumbuga yeebaziza Dr. Lawrence Mulindwa olw’okuwangira enteekateeka z’Obwakabaka. Oluvanyuma Mukuumaddamula asisinkanye abantu bakabaka ababadde bamulindiridde ku kisaawe e Kamengo nayogerako gyebali

 Bano abakubirizza naddala abali mukulima emmwaanyi okwewala okukozesa obubi ensimbi zebafuna mu Mmwanyi nga bazisaasaanyiza mu kunywa omwenge ekiyinza okubaviirako okufuna Mukenenya.

Asabye abantu bakabaka okusa gavumenti ku nninga ebakolere ku byetaago byabwe kubanga ebaggyamu ensimbi mpitirivu naddala ku mmwanyi zebalima.

Ye Minisita w’ebyobulimi n’obwegasi  owek. Hajji Amisi Kakomo akubiriza Bannamawokota okulima emmwanyi ezo ekiri ku mutindo.

Omwami wa Beene amulamulirako essaza Mawokota, Kayima Sarah Nanono Kaweesi yeyanziza Ssaabasajja olw’obuvunaanyizibwa bweyamuwa era naawera okunnyikiza enteekateeka z’Obwakabaka okulaba nti abantu be bakulaakulana.

Banabyabufuzi e Mawokota nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owa disitulikiti  ye Mpigi Teddy Nambooze nabo batendereza Kamalabyona olwa kawefube wa Mmwanyi Terimba nebasuubiza okumuwagira.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist