
Bya Ssemakula John
Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga asabye bannayuganda naddala abaganda abawangaalira mu kibuga Manchester mu Bungereza okunyweza ennono n’obuwangwa .
Owek. Mayiga annyonnyodde nti singa omuntu akola byonna nga abitambuliza ku nnono n’obuwangwa bingi bimwanguyira.
Ono abasabye bulijjo okulondoola ebyo byebakola awamu nebyo byebategeka okukola era buli kimu bakikole bulungi okusikiriza abangereza babeeguye, babawe emirimu.
Agasseeko nti embeera zonna zibaamu ebisoomoozo, naye tebisaana kukulirizibwa. Omuntu alina kuba mukalabakalaba okubivvuunuka n’okubaako ky’akola.
Mayiga annyonnyode ebituukiddwako mu nteekateeka Nnamutaayiika w’Obwakabaka n’abakasa nti Buganda edda ku ntikko.
Era alaze egimu ku mirimu gya Kabaka gitambuzibwa mu ngeri nnungamu; abantu mu Buganda beenyigidde mu kukola emirimu egy’enjawulo; okulima emmwanyi kweyongedde; Obumu bweyongedde mu bantu ba Kabaka; obuwangwa n’ennono byeyongedde okutegeerekeka; ebika nabyo byeyongedde okumanyika; olulimi oluganda lusoosowazibwa e Mengo, nga n’e Google yalutongozza.

Kamalabyonna Mayiga akikkaatirizza nti okuzza Buganda ku ntikko mulimu gwaffe ffenna yonna gye tubeera, era n’abawa amagezi okulondoola ebyo bye baba bateeseteese okukola, basobole okubiggusa, emirimu gitambule bulungi, bawagire enteekateeka z’Obwakabaka, Obuganda budde ku ntikko.
Yeebazizza bannansi b’e Bungereza olw’okukkiriza okusenza Bannayuganda ate n’okubeera nabo mu ddembe.
Ye Oweek. Joseph Kawuki, ategeezezza nti buli muntu azaalibwa n’obuvunaanyizibwa nga Ssenga, Kkojja, Maama, Taata n’ebirala, ebituwa obuvunaanyizibwa okukuuma ekitiibwa kya Buganda.
Abakubirizza buli omu okuzuula obuvunaanyizibwa bwe mu kuzimba Obuganda, era abutuukirize.
Abasabye okwongera okukuuma Omwoyo gwa Buganda, babe n’ekyenjawulo kye bakola mu bantu ba Kabaka ate n’okubatuusaako obubaka obutuufu ku bifa embuga.

Ye Omumyuka w’Omubaka wa Kabaka mu bitundu by’e Manchester, Omuk. Enoch Kiyaga, asabye abantu b’ekitundu kyatwala okunyweza Obwakabaka nga tebabutyoboola.
Ategeezezza Katikkiro nti ab’e Manchester omutimbagano tebagugenderako nnyo kuba bawagizi nnyo eri enteekateeka z’Obwakabaka nga n’ensimbi ez’okwaniriza Katikkiro bazitodde n’okwagala.
Ayanjulidde Katikkiro omukiise omuggya ku lukiiko lw’omubaka wa Kabaka anaakiikirira ebitundu by’e Birmingham, Omuky. Liz Namutebi.
Katikkiro yawerekeddwako Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, Oweek. Joseph Kawuki, Ssaabalangira Godfrey Musanje, Omutaka Walusimbi, Omutaka Nakigoye, Omutaka Kyaddondo, Omutaka Natiigo; Owek. Mutaasa Kafeero, Owek. Hasifah Nalweyiso, Owek. Rashid Lukwago, Omuk. John Fred Kiyimba, Omuk. Michael Kawooya Mwebe, Omuk. Simon Kaboggoza, Omuk. Jeff Sserunjogi n’abalala.









