
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga awadde abavubuka amagezi okuba n’essuubi, abeesigwa, abantu balamu ate abakozi abateebalira bwebaba baagala ensi okubanguyira.
Kamalabyonna bino abyogeredde mu nsisinkano n’abavubuka b’ekibiina ekitaba abavubuka ki Buganda Youth Council (BYC) e Bulange e Mmengo ku Lwokusatu abazze okumusiima olw’obuweereza eri Uganda ne Buganda mu myaka 10 gyamaze ng’alina Ddamula.
Owek. Mayiga agambye nti abavubuka gwe muyungagano wakati w’obuto n’okusajjakula era bwebuyamba okuzimba obulamu n’okusobola okufuuka ab’ensonga.
Ono akubirizza abavubuka okuba abantu balamu, abeesimbu nga beesigwa, babeere ba mpisa, bawe abantu ekitiibwa wakati mu kubeera abomugaso olwo buli kyebayaayanira baakukituukako.

Bwatyo Katikkiro asabye abavubuka bano obutagwamu ssuubi wabula absigale ngabagondera ebiragiro okuva e mbuga nokwongera okwagala Ssaabasajja Kabaka Ronald Fredrick Kimera Luwangula Walugembe Muwenda Mutebi II.
Akiikiridde minisita w’abavubuka n’ebyemizannyo Owek. Israel Kazibwe ategezezza nti abavubuka bano gyebayise tebaswazizza Buganda mu mpereza y’emirimu gyabwe naabasaba okutambulira awo.
Ssentebe w’olukiiko lwabavubuka ba ‘Buganda Youth Council’ Baker Ssejjengo yebazizza Owomumbuga olw’okulambika obulungi abavubuka wakati mu kubakubiriza okwekulaakulanya mu ngeri ezenjawulo ezibazimba.

Omukolo guno gwetabiddwako abaaliko abakulembeze mu kibiina kino okuli; Hon. Allan Ssebunya Omubaka wa Nakaseke Central ne Hakim Kizza awamu n’abalala.
Abavubuka bano batonedde Katikkiro entebe n’emmeeza ebikoleddwa mu muti ogwomubule ogusinga obugumu okumusiima.
Omukolo guno gwetabiddwako Ssenkulu wa BBS Terefayina Omuk. Eng. Patrick Ssembajjo, Omuk. Benon Kivumbi owa Zambogo SACCO n’abakungu abalala bangi.









