• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga asabye abatikiddwa okubeera abayiiya

Gambuuze by Gambuuze
January 29, 2021
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro Mayiga asabye abatikiddwa okubeera abayiiya
0
SHARES
29
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stephen Kulubasi

Mmengo

Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akubirizza abayizi abatikkiddwa olwaleero ku ttendekero lya  Buganda Royal Institute e Mmengo Kakeeka, okubeera abayiiya ate bafube okwenyigira mu kunoonyereza era beetandikirewo emirimu.

Abamu ku bayizi abasinze bannabwe nga bagabulwa Katikkiro Mayiga

 “Mbasaba nga mutendeka abaana, munyiikire okubayigiriza okunoonyereza kubanga atabeere mu buyiiya na kunoonyereza ensi tajja kugirya.” Owek. Mayiga bw’asabye.

Owek. Mayiga ategeezezza nti emisomo gy’emikono egisomesebwa ku ttendekero lino erya Buganda Royal Institute ge gasinga omugaso kuba gayamba okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu nsi ezikyakula nga Uganda.

Katikkiro akuutidde abayizi okukozesa empapula ze bafunye zibeere omusingi kwe bazimbira ebinaabafuula abawanguzi era n’obuyigirize bwe bafunye bweyolekere mu bikolwa byabwe so si bigambo kuba wano ensi ejja kubasembeza.

Mayiga asabye abayizi okubeera abamalirivu naddala nga basanze ebizibu mu nsi gye balaga era bakimanye nti oyo yenna asobola okuvvuunuka ebizibu y’awangula.

Ye minisita wa Buganda ow’ebyenjigiriza Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma yeebazizza Katikkiro Mayiga n’olukiiko oluddukanya ettendekero lino olukulirirwa Dr. Kasozi Mulindwa olw’enkolagana ennungi n’Obwakabaka,  ekitumbudde ebyenjigiriza mu ggwanga.

Minisita Nankindu atenderezza omulimu ogukoleddwa ettendekero lya Buganda Royal Institute naye n’asaba gavumenti okuvaayo eyambeko amatendekero ku byetaago bye galina naddala mu kisaawe kya Tekinologiya, olwo ekigendererwa ky’okukyusa obulamu bw’abantu 2040 wanaatuukira, kisobole okutuukirira.

Owek. Nankindu  akubirizza abayizi okukozesa obuyivu bwabwe yonna gye balaze okusobola okuzimba eggwanga n’abantu baabwe.

Kinajjukirwa nti gano ge amatikkira g’ettendekero lino ag’e  15 okuva lwe lyafuna olukkusa okutikkira era ng’olwaleero abayizi 721 be batikkiddwa wabula ng’emikolo gikoleddwa mu ngeri ya Ssaayansi olw’okwewala okusaasaanya ekirwadde kya Ssennyiga Corona.

Ssebulime Nicholas yanywedde mu banne akendo nga afunye 4.63 CPGA ng’akuguse mu ssomo ly’ amasanyalaze nafuna ebbaluwa ya Dipulooma era ono Kamalabyonna amukwasizza ekirabo okumusiima.

Omukolo gwetabiddwako; Bishop James Bukomeko, Omumyuka wa Katikkiro Asooka era Minisita W’Obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu, Owek Assoc. Prof. Dr. Twaha Kigongo Kaawaase, Omumyuka wa Katikkiro ow’Okubiri era Minisita w’ebyensimbi n’okuteekerateekera Obwakabaka, Owek Robert Waggwa Nsibirwa, abakiise mu Lukiiko lwa Buganda, n’abakungu abawerako.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.