Bya Stephen Kulubasi
Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akubirizza abayizi abatikkiddwa olwaleero ku ttendekero lya Buganda Royal Institute e Mmengo Kakeeka, okubeera abayiiya ate bafube okwenyigira mu kunoonyereza era beetandikirewo emirimu.
“Mbasaba nga mutendeka abaana, munyiikire okubayigiriza okunoonyereza kubanga atabeere mu buyiiya na kunoonyereza ensi tajja kugirya.” Owek. Mayiga bw’asabye.
Owek. Mayiga ategeezezza nti emisomo gy’emikono egisomesebwa ku ttendekero lino erya Buganda Royal Institute ge gasinga omugaso kuba gayamba okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu nsi ezikyakula nga Uganda.
Katikkiro akuutidde abayizi okukozesa empapula ze bafunye zibeere omusingi kwe bazimbira ebinaabafuula abawanguzi era n’obuyigirize bwe bafunye bweyolekere mu bikolwa byabwe so si bigambo kuba wano ensi ejja kubasembeza.
Mayiga asabye abayizi okubeera abamalirivu naddala nga basanze ebizibu mu nsi gye balaga era bakimanye nti oyo yenna asobola okuvvuunuka ebizibu y’awangula.
Ye minisita wa Buganda ow’ebyenjigiriza Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma yeebazizza Katikkiro Mayiga n’olukiiko oluddukanya ettendekero lino olukulirirwa Dr. Kasozi Mulindwa olw’enkolagana ennungi n’Obwakabaka, ekitumbudde ebyenjigiriza mu ggwanga.
Minisita Nankindu atenderezza omulimu ogukoleddwa ettendekero lya Buganda Royal Institute naye n’asaba gavumenti okuvaayo eyambeko amatendekero ku byetaago bye galina naddala mu kisaawe kya Tekinologiya, olwo ekigendererwa ky’okukyusa obulamu bw’abantu 2040 wanaatuukira, kisobole okutuukirira.
Owek. Nankindu akubirizza abayizi okukozesa obuyivu bwabwe yonna gye balaze okusobola okuzimba eggwanga n’abantu baabwe.
Kinajjukirwa nti gano ge amatikkira g’ettendekero lino ag’e 15 okuva lwe lyafuna olukkusa okutikkira era ng’olwaleero abayizi 721 be batikkiddwa wabula ng’emikolo gikoleddwa mu ngeri ya Ssaayansi olw’okwewala okusaasaanya ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Ssebulime Nicholas yanywedde mu banne akendo nga afunye 4.63 CPGA ng’akuguse mu ssomo ly’ amasanyalaze nafuna ebbaluwa ya Dipulooma era ono Kamalabyonna amukwasizza ekirabo okumusiima.
Omukolo gwetabiddwako; Bishop James Bukomeko, Omumyuka wa Katikkiro Asooka era Minisita W’Obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu, Owek Assoc. Prof. Dr. Twaha Kigongo Kaawaase, Omumyuka wa Katikkiro ow’Okubiri era Minisita w’ebyensimbi n’okuteekerateekera Obwakabaka, Owek Robert Waggwa Nsibirwa, abakiise mu Lukiiko lwa Buganda, n’abakungu abawerako.