
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga, akunze abantu b’omulembe Omutebi okwekwata ku nnono n’obuwangwa, Buganda esobole okuddamu okutojjera ne Uganda ekulaakulane.
Bino Owek. Mayiga abyogeredde mu Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula oluwalo lwa bukadde obuweze 19 okuva mu ggombolola 6 ezikola essaza lye Mawogola ku Lwokubiri.
“Ffe ab’Omulembe Omutebi twettanire ebyo ebyayitimusa Buganda mu mirembe egyayita. Twettanire Obuwangwa n’Ennono tujja kuddamu tutojjere. Teriiyo ggwanga lisuula buwangwa bwalyo nerikula, n’ensi ezivuddeyo wano mu Afirika nga Ghana ne South Africa, bali ku nsonga ya buwangwa,” Owek. Mayiga bw’alambuludde.
Ono awadde eky’okulabirako ky’okukozesa Olulimi Oluganda lwe yalagira lukozesebwe mu biwandiiko ebitongole eby’Obwakabaka nategeeza nti kino kiyamba okulukuuma n’okulunyweza.

Owek. Mayiga asabye abantu okulukozesa ku mitimbagano, ewaka, nokuluwandikamu ebiwandiiko naddala mu kiseera kino nga kampuni ya Google yakamala okulutongoza nga olumu ku nnimi ezisinga okukozesebwa mu kitundu kino eky’Obuvanjuba bw’ Afirika.
Owek. Mayiga asabye gavumenti okussa amaanyi ku nnimi ennansi okuva mu Pulayimale okutuuka mu Siniya bweba eyagala okutumbula amasomo ga sayansi n’okunoonyereza mu ggwanga.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, ensonga z’ettaka e Mawogola nkulu nnyo naye tezisaanye kubalumya mutwe kuba abakaayanira ettaka tewali gyebagenda kulitwala nasaba abakulembeze obudde babumalire mu kulwanyisa bwavu mu bantu b’Omutanda.
Owek. Mayiga asabye abakulembeze abalondeddwa okumanya nti babeera baweereddwa obuvunaanyizibwa okukola abantu bye baagala era kisinga kibalema olwo abantu bajja kubaggyamu obwesige.
Ku nsonga y’ababaka okuli Muhammad Ssegiriinya ne Allan Ssewanyana, Owek. Mayiga annyonnyodde nti bano basaana okuyimbulwa bwewabaawo omusango bawoze nga bava wabweru kuba ebbanga lyebasibiddwa ddene nnyo.
Kamalabyonna Mayiga yeebazizza abaami ba Kabaka ne Muteesa olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Ye Omwami wa Kabaka atwala Mawogola, Muteesa Muhammad Sserwadda, yeebazizza Obwakabaka nasaba katikkiro ayogera okubakwatizako ku nsonga y’emmwaanyi.

Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Sembabule, Mary Begumisa, naye yeebazizza katikkiro olw’okuvumirira etteeka ly’emmwaanyi nagamba bo basomera ku mmwaanyi n’olwekyo gavumenti yetegerezenga bweba ereeta amateeka agakwata ku muntu wa wansi.
Abaami bakabaka abamukulembererako egombolola omukaaga ezikola essaza Mawogola baloopedde katikkiro okusomozebwa kwebalina mu gombolola zabwe.
Omukolo guno gwetabiddwako minisita wa gavumenti ez’ebitundu owek. Joseph Kawuki,omwami wa kabaka amukulemberako essaza Mawogola Muteesa Hajji Muhammad Sserwadda,bannabyafuzi okubadde omubaka omukyala owa disitulikiti ye Ssembabule Mary Begumisa,kansala wa Lubya Hakim Kizza n’abantu abalala okuva mu Ssaza lye Mawogola.









