Bya Ssemakula John
Namirembe
Katikkiro Charles Peter Mayiga, asabye abafumbo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka, kibayambeko okwewala enkaayana eziyinza okusattulula obufumbo bwabwe.
Entanda eno, Katikkiro Mayiga agiweredde ku mukolo gw’okugatta abagole suzan Naluwooza ne Joel Mugisa ku Lutikko e Namirembe leero ku Mmande nga bano bagattiddwa Rev. Godfrey Kyanda.
“Mbakulisa, obufumbo bulinga ekkolero, bw’oyita omukulu okuggulawo ekkolero basala akaguwa ne kkamera zikuba ebimyanso naye obukulu bw’ekkolero tebuli mu mukolo gw’okuliggulawo naye engeri ebitongole ebyenjawulo gye bikolamu, nammwe mu bufumbo bwe mulina okuba, obufumbo bulina ebitongole.” Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.
Owoomumbuga Mayiga ategeezezza nti kikulu nnyo abazadde okukuliza abaana baabwe mu mpisa naddala ez’obwetoowaze kubanga ze zaabasisinkanya abaana baabwe ne batuuka n’okusisinkana era abakuutidde buli omu okutuukiriza obuvunaanyibwa bw’alina okukola mu bitongole by’amaka.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, mu bufumbo walina okubaawo okuwuliziganya ku buli nsonga ng’ebitongole bwe bikola nga kino kye kigenda okusalawo oba obufumbo bwabwe banaabweyagaliramu.
Ono asabye abavubuka okwettanira obufumbo kiyambeko ensi okukulaakulana era bafube okunyweza ebiragaano bye bakubye.
Abagole baliko ebirabo bye batonedde Kamalabyonna okumwebaza emirimu gy’akolera Obuganda era ne Katikkiro Mayiga abawadde ebirabo.