
Bya Francis Ndugwa
Lubaga – Kampala
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abafumbo bulijjo okubeera abayiiya era abanyiikivu bwe baba baagala obufumbo okubanyumira.
Entanda eno, Owek. Mayiga agiweeredde mu kugattibwa kwa Ssenkungu Livingstone ne Viola Namukasa mu bufumbo Obutukuvu leero ku Lwokutaana mu Lutikko e Lubaga.
Ssaabasumba omuggya ow’essaza ly’e Kampala Paul Ssemogerere yabagasse.
Katikkiro ategeezezza nti embaga si bwe bufumbo, obufumbo lugendo lwe beetegekera era abalutambula beesibirira entanda enaabamazaako olugendo olwo nga muno mulina okubaamu obugumiikiriza, obuyiiya awamu n’obunyiikivu.
Abasabye bulijjo okwekwata ku bintu ebibawa essanyu era bakulembeze obwerufu mu buli kye bakola kibayambe okunyumirwa olugendo lwabwe luno.
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemwogerere ategeezezza abafumbo okukomya okukola emize egiweebuula ekitiibwa ky’amaka omuli okulwagana, okwetemula n’emirala nti emize egyo giviiriddeko abavubuka bangi obutawasa olwokutya kwefuna obuzibu obw’ekika kino.
Omugole Namukasa Viola muwala wa muganda wa Katikkiro era abooluganda lw’abagole nga bakulembedwamu Resty Namukasa beebazizza omutonzi abatuusizza ku kkula lino.
Omukolo guno gwetabiddwako Owek. Charles Peter Mayiga ne mukyala we, Margaret Mayiga, Omuwanika w’Obwakabaka, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omumyuka w’omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Hajji Ahmed Lwasa n’abakungu abalal









