
Bya Ssemakula John
Bbira – Busiro
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akungubagidde abadde omukozi wa leediyo ya CBS, DJ Emma eyafudde obulwadde bw’ensigo mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu lwa wiiki eno. Akawungeezi ka leero ku Lwokuna, Kamalabyonna Mayiga agenzeeko mu maka g’omugenzi e Bbira- Kireka mu Busiro n’agumya ab’enju era n’okubagumya olw’eddibu DJ Emma ly’abalekedde.
Katikkiro Mayiga asinzidde wano n’ategeeza nti DJ Emma abadde ayagala nnyo omulimu gwe, ng’akola n’okwagala, ate ng’aguwa obudde.
Ate ye akiikiridde abakulu ba leediyo ya CBS, Dr. Sam Kazibwe ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde ayagala ennyo omulimu gwe, akola obuteebalira, omunyiikivu ate mukwano gwa buli muntu awatali kusosola na kwegulumiza.
Mukyala w’omugenzi, Nakafeero Prisca yeebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okubabeererawo mu mbeera yonna nga DJ Emma ajjanjabibwa era ne Katikkiro Mayiga olw’okwagala ennyo omugenzi kuba buli kadde omugenzi abadde akyogera lwatu nti Katikkiro Mayiga amwagala.
Abatuuze boogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde akolerera ekitundu kino nga yeetaba mu bulungibwansi ng’atoola emitwalo etaano buli mwezi okusobola okutumbula ekitundu kino awamu n’embeera zaabwe.
DJ Emma ng’erinnya ettuufu ye Emmanuel abadde akola Program eyitibwa Evening Cruise ku CBS 89.2 okuva ku ssaawa kkumi okutuuka ku ssaawa emu ey’akawungeezi.









