• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga alambudde ku Mutiibwa Kalidinaali Wamala

Gambuuze by Gambuuze
November 1, 2021
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga alambudde ku Mutiibwa Kalidinaali Wamala
0
SHARES
66
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Nsambya

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga alambudde ku Kalidinaali Emmanuel Wamala  era n’abaako n’obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka bw’atuusa olw’okufiirwa muto we, Msgr. Henry Kyabukasa.

Ensisinkano eno ebaddewo leero ku Mmande mu maka ga Kalidinaali e Nsambya mu Kampala.

“Ssebo Omutiibwa Kalidinaali, nsanyuse nnyo okujjako wano mu maka go era Ssaabasajja Kabaka atumye nnyo okukulaba era akusaasidde olw’okufiirwa muto wo Msgr. Henry Kyabukasa era n’antuma okutegeeza nti asiima nnyo essaala z’omuweereza era akakasiza ddala nti zimuyambye.” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza

Ku lulwe Katikkiro Mayiga ategeezezza nti muto wa Kalidinaali Byabukasa yali amumanyi okuva mu buto kuba yakola ne kitaawe Fr. John Musoke nga batendeka abaseminariyo e Bukalasa ate ng’abamu ku abo batendese abadde nabo emyaka mingi.

Katikkiro Mayiga agamba nti Msgr. Kyabukasa yali mwetowaze olw’okuba yali mugezi era ng’akimanyi nti  muto wa Kalidinaali.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, kyamukisa okuba nti Katonda abawadde ekirabo eky’okulaba Kalidinaali ebbanga lino lyonna naddala abo abamulabako ng’akyali Ffaaza era kibeera kyasanyu buli lwe bamusisinkana.

Mu ngeri y’Obuwangwa, Katikkiro Mayiga mu kukubagiza kuno agenze n’ekita ky’omwenge okwongera okulaga okunyolwa.

Ye Omutiibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala asiimye Katikkiro Mayiga olw’okumulambula era n’amusiima olw’emirimu gy’akola okusitula embeera z’abantu mu Buganda.

“Onsanyudde kubanga obugenyi bwo buno buziguliddewo ebijjukizo ebyo. Ssebo Kamalabyonna wa Buganda n’obuwombeefu bungi  nkusaba onamusize Bbaffe Ssaabasajja Kabaka ne maama Nnaabagereka, abaana beng’oma, Abalangira n’Abambejja n’Obuganda bwonna.” Ssaabasumba omuwummuze ow’essaza ekkulu ery’e Kampala bw’ategeezezezza.

Share this:

Tags: Kalidinaali WamalaKatikkiro Mayiga
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist