
Bya Francis Ndugwa
Nsambya – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga n’Omukyala balambudde ku Mutiibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala ne bamwanjulira mutabani wabwe Charles Bbaale Mayiga ne munne Sonia Nnabagereka abeetegekera obufumbo obutukuvu.
Kamalabyonna Kalidinaali Wamala amusanze mu makaage e Nsambya mu Kyaddondo ku Lwokubiri.
Bano Kalidinaali Wamala abawadde omukisa n’ekirabo ky’ amaka amatukuvu era neyeebaza Kamalabyonna olw’ebyo byakolera Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka n’ensi Buganda.
Omutiibwa Wamala ategeezezza nti okulambula kuno kumuwadde essanyu lingi kuba asobodde okulaba ku Kojja we Charles Bbaale Mayiga eyeetegekera obufumbo.
Kamalabyonna Mayiga ayozaayozezza Kalidinaali Wamala olw’okuweza emyaka 97 era neyeebaza Katonda olw’okumusobozesa okubala ebibala ebigasizza ensi.
Owek. Mayiga amwebazizza olw’okusabiranga Ssaabasajja Kabaka n’Obuganda nebasobola okuwangula ebibasomooza.
Mukuumaddamula Mayiga yeebazizza Kalidinaali Wamala olw’okusabira abaana babwe n’okubawa omukisa n’ekirabo ky’Amaka amatukuvu mu lugendo lw’obufumbo lweboolekedde.
Mutabani wa Kamalabyonna Bbaale Mayiga yeebazizza Omutiibwa olw’okubawa omukisa awamu n’ekirabo ky’amaka amatukuvu.










