Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alambudde ku bakozi b’ekitongole ki BBS Terefayina okulaba engeri emirimu gyegitambuzibwamu awamu n’okuzzaamu abakozi amaanyi okusobola okutwala Ttivi eno mu maaso.
Okulambula kuno Katikkiro akukoze ku makya g’Olwokusatu nga abadde awerekeddwako Minisita avunaanyizibwa ku mawulire n’okukunga abantu, Owek. Israel Kazibwe Kitooke awamu n’abakungu abalala.
Owek. Mayiga eno ayaniriziddwa akiikiridde Bboodi ya Terefayina, Omuk. Michael Kironde, Ssenkulu Omuk. Patrick Ssembajjo awamu n’abakulu abalala.
Bw’abadde ayogera Kamalabyonna Mayiga asabye abakozi okutwala ekitongole kino ng’ekyabwe emirimu gisobole okutam bula obulungi era bamanye nti omulimu bulijjo gubeera mubi nga oli agulina naye bweguggwawo bangi batandika okugwegomba.
Mukuumaddamula yeebazizza abakozi abatandika ne BBS Terefayina olw’okuguma nebaweereza kuba bulijjo abangi baagala kusanga biwedde.
Ono annyonnyodde nti enteekateeka z’okulambula ebitongole by’Obwakabaka zigendereddwamu okumanya abakozi sekinoomu naakuutira abatwala abakozi okubamanya okusobola okutuuka ku buwanguzi.
Owek. Mayiga abayozaayozezza olw’okuweza emyaka 8 nga baweereza nabasaba okulwana okulaba nti ttivi eno ekwata ekifo ekisooka mu ggwanga lyonna baleme kukoma ku kulemberamu mu Buganda ne Busoga byokka.
Kamalabyonna abakozi abasabye okwongera amaanyi mu kubunyisa amawulire agakwata ku Nnyimu ne Gavumenti y’Obwakabaka saako n’okujaagazisa abavubuka kubanga bano bebasinga obungi muggwanga.
Minisita Israel kazibwe Kitooke yeebazizza Kamalabyonna olw’okubeera awamu n’abakozi ba Terefayina wakati mumasanyu ne mu nnaku.
Owek. Kazibwe abakozi abasabye okwongera amaanyi mukubunyisa enteekateeka z’Obwakabaka n’okuzimanyisa abantu abalala.
Ye Ssentebe wa Bboodi Omuk. Michael Kironde yeebazizza abatwala BBS n’abakozi olw’okukola ennyo Ttiivi ya Kabaka neesobola okwegiriisa mu kisaawe ky’ebyempuliziganya.
Omukungu Kironde era yeebazizza Katikkiro olw’okutunda omukutu guno buli bwabeera nga ayogera eri eggwanga ku mikolo egy’enjawulo.
Aba BBS Terefayina baliko ebirabo byebatonedde Kamalabyonna, Minisita Kazibwe wamu ne Culton Scovia Nakamwa eyafunye sikaala okweyongerayo n’emisomo mu ggwanga lya Bungereza.