• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga alambise Abaami b’eggombolola

Gambuuze by Gambuuze
August 20, 2026
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga alambise Abaami b’eggombolola
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Katwe – Kyaddondo

Abaami ba Kabaka Abeggombolola batudde mu nsisinkano yaabwe eyabuli mwaka, nga ey’omulundi guno etegekeddwa ku Muganzirwazza e Katwe.

Katikkiro Charles Peter Mayiga alambise Abaami abalamulirako Ssaabasajja Kabaka e ggombolola ze, n’abawa amagezi n’obukodyo okusobola okutambuza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe.

Katikkiro yebazizza Abaami b’e ggombolola okwenyigira mu kujjukira amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 33 ate n’amakula ge bawaayo agaali ag’ekitiibwa. Abakulisizza okuyita mu kulonda kw’abakulembeze b’e byalo, n’akinogaanya nti Ow’eggombolola alina okusooka okuzza obwami bwaba ayagala kwesimbawo.

Katikkiro ategeezezza nti okulonda kw’omulundi guno kubadde kwa kwesika mataayi, wabula agamba Abaami ba Kabaka balina obuvunaanyizibwa okuzza obumu mu bantu. Agamba abantu okulwana ku kyalo kikyamu era kiringa ekigenderere. Abasabye bazimbe obukulembeze ate baleete ebbugumu mu buweereza bwabwe nga bateekawo polojekiti n’ebirowoozo eby’enkulaakulana, kibayambe okukumaakuma obulungi be bakulembera. Era bagabanyizeeko bannaabwe ku buyinza.

Bano abannyonnyodde ku nteekateeka ya situla omutindo n’ategeeza nti kikulu nnyo abaami okugigoberera. Kubanga omwami bw’ataweereza mu mpeereza ya mutindo baweereza nabo bamwetamwa. Bw’atyo asabye abaami balondoole enkola ya situla omutindo wabula batambulire mu nkola y’omulembe omuggya omuli; obuyiiya, obunyiikivu, obwerufu, okukola n’okwagala.

Kamalabyonna era asabye Abaami bano okukuuma eby’obugagga bya Kabaka naddala ettaka balikolereko polojekiti ez’enjawulo basobole okufuna ensimbi ezitambuza emirimu. Abasabye obutakkiriza kuwugulwa na bigambo bya bannakigwanyizi, era abakikola bakikola kagenderere kuwugula bantu kuva ku Kabaka, n’olwekyo buvunaanyizibwa bwabwe nga Abaami ba Kabaka okusooka okutebuka bannakigwanyizi abo basaabulule obulimba bwabwe mu bantu. Abeebazizza okunyweza omwoyo gwa Buganda ogutafa ogwokwewayo okuweereza Kabaka.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, alagidde abaami bano okukuuma ekitiibwa ky’e mbuga z’e Ggombolola nga nnyonjo, zirabirirwa bulungi, basitule omutindo gw’obuweereza nga basimbye mu mubala gw’omwaka guno ogwa situla omutindo.

Waliwo abaami abamu abatafuddeyo ku nkola ya tondeka mu luwalo, ye kyagamba nti oluwalo kabonero akalaga enkolagana y’Omwami wa Kabaka ne baakulembera era Abaami basaana okugissaako omulaka. Ku nsonga ye by’obufuzi, Minisita Kawuki abeebazizza okulambika abantu mu kulonda okuwedde, n’abasaba batambule n’abakulembeze abalonde naye beewale okufuuka ba kadeyideyi baabwe, era batwale obuvunaanyizibwa okulambika abantu ku njawulo ye by’obufuzi n’obukulembeze.

Nga yesigama ku byazuuliddwa mu nteekateeka y’okulondoola entambuza y’emirimu mu Masaza ey’olupimo, Minisita Joseph Kawuki agambye nti nga Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu, bagenda kusigala nga balondoola ebifa ku mbuga z’amaggombolola olutatadde kisobozese Abaami ba Kabaka okuzifaako obulungi. Okulambika Abaami b’e ggombolola kuno, kukolebwa buli mwaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.