Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde ebikolwa ebityoboola amateeka n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu by’agambye nti bikonzibwa okukula kw’ensi.
Kamalabyonna Mayiga asinzidde mu lukiiko lwa Buganda mu Bulange e Mmengo n’asaba bannayuganda bonna okulafuubanira obufuzi obutambulira mu mateeka okusobozesa Uganda nga eggwanga okukula era asabye abo abakwasiza amateeka okugoberera ennambika ya ssemateeka wa Uganda owa 1995.

“Kikulu nnyo okuba n’obufuzi obutambulira mu mateeka, Buganda ne Uganda bwe binaaba eby’okukula era tulowooza nti omuntu aba amenye amateeka ayitibwe ku poliisi kuba amateeka bwe gagamba, ategeezebwe amateeka ge yamenye bw’aba wa kukwatibwa akwatibwe misana aleme kuwambibwa buwambibwa” Katikkiro Mayiga.
Ebigambo bya Katikkiro bino bijjidde mu kiseera nga gufuuse mugano ennaku zino ogw’okutwaala abakwaate mu kifo ekyakazibwako “basement” naddala abo abali ku ludda oluvuganya Gavumenti, mu balabikidde mu mbeera eno kuliko Eddie Ssebuufu (Eddie Mutwe), Ssaalongo Erias Lukwago n’abalala.
Katikkiro Mayiga asabye abakuumaddembe okutwala abavunaanibwa mu bifo ebirambikibwa mu mateeka okuli ku poliisi, ate oluvanyuma mu kkooti kubanga Ssemateeka bw’alambika.
Ku nsonga y’okutulugunya abasibe ezze yemulugunyizibwako abantu abatali bamu, Owoomumbuga asabye abakuumaddembe abakwata abantu obutabakuba wadde okubabaswaza mu ngeri y’okutyoboola ekitiibwa kyabwe nga babambula engoye oba okubatigatiga.
Katikkiro ajjukiza abakwasiza amateeka nti, atanasalirwa musango era tabeera nagwo kale nga basanidde okubayimbula abantu ku kakalu ka kkooti kuba kisobokera ddala okunonyereza ne bakizuula nti oyo abadde ateeberezebwa ate talina musango.
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu abenjawulo bazze boogera ku ntambuza y’amateeka etali nnungamu mu ggwanga naddala ku ky’obutagoberera ssemateeka kale nga Katikkiro alaze nti singa bawulirizibwa ensi egya kuterera naddala ku ludda lw’ebyensimbi, nga abagenyi, abalambuzi ne bamusigansimbi Ensi baggyettanira.









