• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro  Mayiga akuutidde  bannanyini kampuni okunyweza omutindo

Gambuuze by Gambuuze
September 28, 2022
in Agafa e Mengo, Amawulire
0 0
0
Katikkiro  Mayiga akuutidde  bannanyini kampuni okunyweza omutindo
0
SHARES
70
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Makindye – Kyaddondo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu abalina kampuni n’emirimu egy’enjawulo bulijjo okunyweza omutindo kibayambe okugenda mu maaso olwo bakulaakulana ne Buganda edde ku ntikko.

Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mukulambula Gombolola ya Makindye Mutuba III ku Lwokusatu, nga asookedde ku kifo ekisanyukirwamu ekya Climax entertainment centre era kino akigguddewo mu butongole.

“Buganda okugenda ku ntikko tulina okulongoosa emirimu, ogubadde ku ddaala lino gutuuke ku ddaala lino. Buli lw’oyagala okwezimba, olina kulongoosa ekyo ky’okola nokirinyisa omutindo. Obunafu bwetulina abantu bangi batya okukola eby’omutindo kuba bimalawo ssente nyingi naye ssente eweesebwa ssente,” Kamalabyonna Mayiga bw’ategeezezza.

Katikkiro Mayiga agamba nti bwobaako byotandise nebwoleeta bannaddiini bebakiwonga eri Katonda naye nolemwa okuteekamu ssente tolina ky’osobola kukifunamu.

Owek. Mayiga annyonnyodde nti Buganda okudda ku ntikko zisimbye emirandira mu bantu baayo okutambula nga bagenda mu maaso era nabakuutira bulijjo obutadda mabega.

Ono asabye bulijjo abantu okukuuma eddaala kwebalinyira era bakomye okulisamba wabula bulijjo bajjukire gyebavudde okusobola okwekeneenya gyebalaga.

Akuutidde abakozi ku mitendera gyonna okutwala ebifo mwebakolera okusinga nnyini kyo kuba singa wabaawo ekizibu ku bifo bino bebasinga okukosebwa era nga kibeera kyangu emirimu okugifiirwa.

Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek.  Joseph Kawuki asabye abamu  ku bakozi bebasanze mu bifo ebirambuddwa okubeera abakozi era emirimu bagikolere mu buyiiya n’obumalirivu.

Owek. Kawuki asabye abantu bulijjo okunyweza obukakkamu n’obuntubulamu era bongere omutindo mwebyo byebakola kibayambe okulaakulana.

Ye Nnanyini kifo kino era nannyini wa Pakalast, Coffee Plus ne Mirano, Raphael Lule yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’okubakubiriza bulijjo okukola awamu n’okulaakulanya Obuganda.

Oluvannyuma Katikkiro Mayiga yeyongeddeyo okulambula ebifo ebirala mu ggombolola eno.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist