• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga akuutidde abavubuka okwekwata Tekinologiya n’obukugu okulwanyisa ebbula ly’ emirimu

Gambuuze by Gambuuze
January 30, 2025
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga akuutidde abavubuka okwekwata Tekinologiya n’obukugu okulwanyisa ebbula ly’ emirimu
0
SHARES
47
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Ziroobwe – Bulemeezi

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga  alaze obwetaavu obw’abantu naddala abavubuka okunoonya obukugu era bettanire Tekinologiya kiyambe okulwanyisa ebbula ly’ emirimu eriri mu ggwanga.

Okwogera bino, Kamalabyonna Mayiga abadde ku kyalo Lubira mu ggombolola Mutuba VI Ziroobwe, mu Ssaza Bulemeezi, bw’abadde aggulawo ettendekero ly’ebyemikono erya Libra Vocational and Business Institute ku Lwokuna.

Katikkiro Mayiga agamba abantu basaanye okubeera n’obukugu obumala mu mirimu gyabwe n’akikaatiriza nti mu kiseera kino nga   Buganda eyayanira okudda ku ntikko, okufuna obukugu mu by’emikono kikulu nnyo nakunga abavubuka okwettanira amatendekero ag’ekika kino.

Owek. Mayiga agattako nti eby’emikono bireetawo nnyo eby’enkulaakulana n’atendereza omutindo ettendekero  lino gwe liriko wabula n’asaba abantu obutamala gatandikawo matendekero nga tegali ku mutindo.

Omutandisi w’ettendekero lino era Ssentebe wa Bboodi ya K2 telecom Omuk. Ssekabembe William, ategeezezza nti batandikawo ettendekero lino okuteekawo ensomesa y’ebyemikono etuukiridde naddala mu masomo g’amasannyalaze, okusiba enviiri, okulabirira abaana, okukanika emmotoka, okufumba, n’okwokya ebyuma.

Omuk. Ssekabembe agamba nti  Ensi ezikulaakulanye zitambulira mu masomo ga bya mikono wabula n’akiikira ensingo abantu abagamba nti amasomo geby’emikono ga baalemwa.

Ye Minisita w’Ebyenjigiriza n’Enkulaakulana y’Abantu mu bwakabaka, Owek. Chotildah Nakate Kikomeko, akubirizza abazadde okunyikira okuweerera abaana era babagazise eby’emikono kubanga lye kkubo Uganda lyekutte okulwanyisa ebbula ly’ emirimu.

Omwami w’Essaza Bulemeezi, Kangaawo Oweek Ronald Mulondo, atenderezza  omutindo gw’ettendekero lino erissiddwa mu ssaza lino era asabye abayizi abalisomeramu okulikuuma obutiribiri obutalyonoona.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist