
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abakulira ebitongole mu Bwakabaka okubeera abayiiya kibayambe okuyita mu mbeera y’ebyenfuna eriwo mu ggwanga.
Ensisinkano eno ebeerawo buli mwaka n’ekigendererwa eky’okusala entotto ku ngeri ey’okwongera amaanyi mu ntambuza y’emirimu gy’Obwakabaka nga eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano.

“Tuli mu biseera bizibu olwa COVID-19, ensimbi zinaabuuse ate tekiri wano wokka ensi zonna zirina ekizibu. Ebintu birinnya ebbeeyi ate nenyingiza ntono, awo ebitongole namakampuni mulina okukanya enkasi mu mbeera eno enzibu,” Owek. Mayiga bw’agambye.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, omulimu omukulu ebitongole ne kampuni z’Obwakabaka byezirina kwe kutambuza emirimu gya Kabaka.

Owek. Mayiga ategeezezza nti mu mbeera nga Buganda terina Federo waliwo okusomooza ku ngeri obuweereza gyebulina okutuuka ku bantu nasaba abaami okuyiiya engeri ez’enjawulo okutumbula embeera z’abantu.
Owek. Mayiga abeebazizza olw’emirimu egikoleddwa kubanga be betooloolerwako emirimu gy’Obwakabak gyonna.
Ensisinkano yeetabiddwamu Ssabawolereza wa Buganda, Oweek. Christopher Bwanika ne Minisita w’Olukiiko, Amawulire, Kkabineeti Abagenyi, era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek. Noah Kiyimba.









