• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga akuutidde Abaami okunyweza Federo y’ebikolwa nga bwebalinda ey’okugabana obuyinza

Gambuuze by Gambuuze
November 24, 2022
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga akuutidde Abaami okunyweza Federo y’ebikolwa nga bwebalinda ey’okugabana obuyinza
0
SHARES
41
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Mukono – Kyaggwe

Katikkiro wa Buganda,  Charles Peter Mayiga, asabye abaami ba Kabaka okunyiikira okunyweza Federo mu bikolwa byabwe n’empeereza nga basoosoowaza ebyo ebigasa abantu ba Kabaka nga bwebalinda Federo ey’okwefuga okuva mu gavumenti eyawakati.

Bino Katikkiro abyogeredde Mukono mu Ggulu ku mbuga enkulu ey’essaza Kyaggwe, bw’abadde abakwasa ebirabo bye baawangula olw’okusinga amasaza amalala mu mpaka z’enkola y’emirimu omwaka guno.

“Nneebaza abaami ba Kabaka olw’okwewaayo ne baweereza abantu. Omutindo gweyongedde era tutambula tugenda mu maaso. Tuluubirira okutuuka ku nfuga eya Federo, nga twekolera ku nsonga zaffe, wabula, nga bwe tutannagituukako, tusaana okunnyikiza federo ey’ebikolwa, tutuuse obuweereza ku bantu ba Kabaka,” Kamalabyonna Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga Abaami abasabye  okugoberera ennambika ebaweebwa obukulembeze bw’Obwakabaka, banyweze obumu awamu n’okuwa buli muweereza omukisa okutuukiriza obuvunaanyizibwabwe.

Ono agumizza Abaami ku mitendera egy;enjawulo  obutatya kukola bisaamusaamu kasita bibeera bya mutindo, awamu n’okusoosoowaza obwerufu

Abasabye bayigire ku bannaabwe kubanga omuntu agaba amagezi ate gamweyongera bweyongezi era bafube okulaba nti ebintu bya Buganda tebitundibwa.

Yebazizza abaami ba Kabaka olw’obujjumbize, obuvumu, okweyawo, ne wabaawo ebituukiddwako. Abasabye okwongera amaanyi mu buweereza bwabwe, balongoose awali obunafu, Obwakabaka bukulaakulane.

Mu nbgeri ey’enjawulo yeebazizza essaza Buvuma olw’okwerwanako era nakulisa n’eggombolola ya Kawuga olw’okusinga eggombolola zonna mu Buganda okuweereza abantu ba Kabaka.

Ye Minisita wa gavumenti ez’ ebitundu, Owek.  Christopher Bwanika,   asabye eggombolola okunyweza enkola ey’okuvuganya, kubanga engendereddwamu kusitula mutindo gwa buweereza mu Buganda, n’abakuutira okutwala mu maaso ebyo bye basobodde okukola mu mwaka 2021/22.

Ate Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ ebitundu Owek. Joseph Kawuki, alambuludde ebyo ebiyitibwamu okulondoola e Ssaza erisinze, omuli, entambuza y’emirimu ku Ssaza, ne mu Ssaza lyonna; enkolagana n’obukulembeze obw’enjawulo; ate n’okukunga abantu okwenyigira mu mirimu gy’Obwakabaka egy’enjawulo.

Era neyeebaza bannakyaggwe olw’ obuwanguzi bwebafunye nga bakulembera Ssekiboobo.

Ssekiboobo Elijah Bogere yeebazizza nnyo baminista ababatwala olw’okubalambika obulungi, mu buweereza bwabwe. Yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okubasoosoowaza mu kuzimbira ennyumba abantu abeetaaga okubeerwa, nga baaweebwa omukisa gw’abantu 7.

Wammanga y’Alipoota eraga amasaza nga bwe gaddiringana mu mpaka z’omwaka 2021/22

Kyaggwe 77%

Bulemeezi 69%

Butambala 66%

Buddu 58%

Ggomba 56%

Ssese 52%

Busiro 50%

Buvuma 47%

Mawokota 42%

Kyaddondo 39%

Mawogola 37%

Kabula 34%

Busujju 30%

Ssingo 27%

Kkooki 23%

Buweekula 22%

Bugerere 21%

Buluuli 14%

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.