• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga akuutidde  Abaami ba Kabaka e Ssese ku kuzzaamu abantu essuubi

Gambuuze by Gambuuze
October 12, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Katikkiro Mayiga akuutidde  Abaami ba Kabaka e Ssese ku kuzzaamu abantu essuubi
0
SHARES
41
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kalangala – Ssese

Katikkiro wa Buganda,  Oweek.  Charles Peter Mayiga,  akubirizza abaami ba Kabaka okudibya endowooza ey’obwannakyewa ku buweereza bw’Obwakabaka, kubanga bonna balina ebika n’omugabo mu Bwakabaka.

Bino abyogeredde mu bizinga by’e Ssese ku Lwokusatu bw’abadde asisinkanye abaami ba Kabaka mu Ssaza eryo ku mbuga e Kalangala.

“Tolina ngeri gyoyinza kuwa bantu ssuubi nga buli kaseera okaaba. Buli mukulembeze abeera nagazibu bwegati gaalina okwetika era awangula yoyo atema empenda nabivunuka. Ffe nga abakulembeze olubeerera tuwe abantu essuubi, ggwe mulimu gwaffe omukulu, ” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.

Ono agambye nti singa Buganda yadda mu kuyimba ebizibu okuva mu 1986 Kabaka lweyakomawo singa terina weeri kuba okudda bwa Kabaka lyali ssuubi ddene nga kati emyaka 29 nga alamula.

Owek. Mayiga abasabye okukola emirimu nga bannakyewa wabula buno buvunaanyizibwa bwabwe bwennyini okuzza Buganda ku ntikko. Abalabudde ku nkola eno nti kuba ereetera abantu obutawa mirimu budde.

Owek. Mayiga abakuutidde okusala entotto okwanganga ebibasoomooza n’okufuna ebirowoozo eby’enkulaakulana era beerekereze okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa basobole okuleetawo enkulaakulana.

Alabudde abakulembeze bulijjo okwewala okukaaba ebizibu kuba bebalina okulaga abalala ekkubo naye bayiiye bwebasobola okugenda mu maaso n’okuzzaamu abantu amaanyi.

Abaami bamuloopedde ebikwata ku bitundu byabwe naddala ebikoleddwa,  ate n’ebyo ebibasoomooza era nebawera okwang’anga ebizibu bino.

Oluvannyuma Katikkiro akomekkerezza obugenyi bwe,  e Ssese,  n’alinnya ekidyeri okudda e Kampala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist