
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abayizi abava mu ssaza lya Beene erya Busiro okunyweza ekkalaamu basobole okubeera n’obulamu obutangaavu.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abutisse minisita wa Kabinenti, Olukiiko n’Ensonga za woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba ku mukolo oguyindidde mu Bulange ku Lwokuna nga abayizi bano bakiise embuga n’Oluwalo lw’obukadde obusoba mu 16.
Owek. Mayiga yeebazizza nnyo abakulu b’amasomero agakiise embuga nti kino kyakuyamba abaana bano okumanya olubimbi lwabwe mu kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko.
Ono era yeebazizza abazadde abajjumbidde ekiragiro kya Beene eky’okusomesa abaana okusobola okutangaaza ebiseera byabwe eby’omu maaso.
Abayizi Mukuumaddamula abakuutide okwettanira amasomo ag’ebyemikono agabawa obukugu obutali bumu ekyongera okutangaaza ebiseera byabwe eby’omumaaso n’okufuna emirimu.
Minisita Noah Kiyimba abayizi abakuutidde okunyweza ekkalamu ate babeere nobuvumu era bakomye okwenyooma olw’ebintu gyebava n’amasomero gebalimu nabakakasa nti singa bateeka omutima ku bitabo n’okubeera ab’empisa bajja kusobola okuwangula.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’Okulambula kwa Kabak, Owek. Joseph Kawuki asabye abaana b’amasomero bano okunyikira okusoma basobole okwongera okutangaaza emikisa gyabwe egy’omumaaso.
Abayizi era minisita abasibiridde entanda bulijjo okwekeneenya enkaliriza ebigenda mu maaso basobole okubako byebayiga, nabasaba bulijjo okwefumitiriza nekubigambo ebibungesebwa abantu ab’emyoyo emibi abogera byebatalina mutwe namagulu kubuli nsonga okuli n’obulamu bwa Nnyinimu.
Kulwa bayizi bano Lule Kevin omuyizi okuva ku Pride SS e Naluvule Wakiso, asabye abavubuka banne okusengejja gyebajja amawulire agakwata ku bwakabaka baleme kulimbibwa.
Ensisinkano eno yetabiddwamu abantu abenjawulo okuli abakulembeze, abasomesa saako n’abaana b’amasomero agenjawulo.









