Bya Ssemakula John ne Gerald Mulindwa
Kitanga – Buddu
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, akunze abavubuka okudda mu byalo balime basobole okwekulaakulanya, kiyambe okuzza Buganda ku ntikko.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/03/158663292_3801582093253689_8308952126060581691_o-1024x512.jpg)
“Abavubuka bangi bava mu byalo ne baddukira mu bibuga, ekibatwala mu bibuga baba basuubirayo obulamu bwe batasobola kufuna mu kyalo era kikubyeko. Kyokka mu kibuga emirimu egiriyo tegimala bavubuka so mu kyalo emirimu egy’okukola gye giri.” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde alambula abalimi mu nkola y’Emmwanyi Terimba mw’alambulidde eggombolola ez’enjawulo okuli Bukoto ne Kyanamukaaka, olwaleero ku Lwokubiri.
Mukuumaddamula ategeezezza nti ebintu byonna ebitwala abantu mu bibuga okuli okusula obulungi, amazzi n’amasannyalaze, basobola okubyetuusaako mu byalo singa babeera beewaddeko ne bakola nga balima n’okulunda.
“Abavubuka mulina okusalawo, oyagala kuweta mugongo ofune ennyumba ng’eno oba oyagala kugenda kubeera ku kibuga, okomewo nga tosobola kuzimba nnyumba ng’eno kubanga tosobola kubizimba nga okuze?” Owek. Mayiga bw’abuuzizza.
Owek. Mayiga ategeezezza nti eddimu lye baliko kati lyakuteeka biragiro bya Kabaka mu nkola abantu basobole okumalirira okweggya mu bwavu kubanga kisoboka. Katikkiro Mayiga asabye abantu mu kitundu kino okutwala Ssentongo nga eky’okulabirako kuba ebirungi biva mu ntuuyo. Abasabye obutalinda binene okutandika, naye basookere ku kitono kye balina.
Akunze bannabyabufuzi okutuusaako abalonzi baabwe obubaka obubajuna basobole okwekulaakulanya kuba babalabirako nnyo. Mu kaweefube ono, Katikkiro Mayiga asookedde wa mulimi Ssentongo Fred Kamagu ow’e Kitanga Mbiriizi, alina yiika ezisoba mu 20.
Ssentongo Fred ategeezezza Katikkiro Mayiga nti yali awangaalira mu kibuga naye n’awulira ekiragiro kya Ssaabasajja era bw’atyo n’addayo okulima emmwanyi, Kasooli n’agattako okulunda enkoko era omulimu guno agumazeemu emyaka 15 wadde ng’asanze ebisoomoozo ebiwerako.
Asiimye Kamalabyonna olw’okulowooza ennyo ku bavubuka era n’abakubiriza okukola, ekintu ekibazzaamu amaanyi nebongera okulemerako era aliko n’ebirabo by’amutonedde.
Mu kulambula kuno, Katikkiro Mayiga awerekeddwako Baminisita ba Buganda n’Abakungu ab’enjawulo.