Bya Francis Ndugwa
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, akungubagidde mukyala wa Minisita w’Obuwangwa n’ennono, Kyewalabye Male, Rosalinda Kyewalabye eyafudde ku lunaku lwa Mmande nga bukya, oluvannyuma lw’okulongoosebwa ebizimba mu lubuto (Fibroids).
Owek. Katikkiro ategeezezza abakungubazi abakung’aanidde mu maka ga Owek. Kyewalabye e Kikajjo ku lw’e Nakawuka, ng’omugenzi bw’abadde omuntu atya ennyo Katonda naye ne yeebaza olw’okuba nti abalekedde ekirabo ky’abaana ekisinga byonna.
Kamalabyonna Mayiga, asabye Owek. Kyewalabye okunywera era agume n’abaana basobole okumugumirako era akakasa nti singa anaaguma, Katonda ajja kumusiba ekimyu asobole okuyita mu kaseera kano akazibu.
Katikkiro Mayiga ategeezezza Minisita Kyewalabye nti, “Olinga ali wakati mu lutabaalo ng’akukwatira engabo ate ye agenze, awo oba olina okugyekwatira, kye kiseera ky’olimu. Naye tuli naawe era okutya n’ennaku kya buntu naye guma ow’oluganda.”
Ono annyonnyodde nga Owek. Kyewalabye aludde nnyo mu buweereza eri Nnamulondo era nga n’embaga yaabwe yagiriko era n’atendereza omugenzi Rosalinda olw’okubeera empagi ennene mu bulamu bwa Minisita Kyewalabye.
Katikkiro Mayiga asiimye ab’ekkanisa y’ekitundu era n’abasaba okumubeererawo mu kiseera kino ekijjudde okusoomooza.
Okusinziira ku Minisita w’amawulire mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek, Noah Kiyimba, omugenzi yalongooseddwa ebizimba era n’adda bulungi engulu naye obudde nga bukya embeera yatabuse era n’ava mu bulamu bw’ensi.
Minisita Kiyimba ategeezezza nti Katikkiro Mayiga ataddewo akakiiko okukwatagana n’abenju okukola ku nteekateeka z’okuziika era nga kano kaliko; Minisita Henry Ssekabembe Kiberu, Minisita Noah Kiyimba n’omukungu David Ntege, okukola ku nteekateeka z’okuziika.
Omukolo gw’okukungubaga guno gwetabiddwako; Omumyuka asooka owa Katikkiro Twaha Kaawaase, Baminisita okuva mu Bwakabaka, bannaddiini n’abakungu okuva mu gavumenti eyawakati.
Omugenzi waakuziikibwa e Kiweebya Mityana mu ssaza ly’e Ssingo ku lunaku Olwokusatu lwa wiiki eno.
Gutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka.