Bya Gerald Mulindwa
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Owek. Katikkiro Charles Peter Mayiga, akungubagidde Dr. Edward Kigonya gw’ayogeddeko ng’omusajja omuntu mulamu, omukozi era abadde ayagala ennyo Kabaka we.
Obubaka buno Kamalabyonna abutisse Minisita w’Amawulire n’olukiiko awamu n’ensonga za Kabbineeti, Owek. Noah Kiyimba n’abusomera abakungubazi mu kitambiro kya Mmisa ekikulembeddwamu Msgr. Charles Kasibante leero ku Lwokutaano.
Owek. Mayiga ategeezezza nti Dr. Kigonya aweerezza Obuganda mu biti eby’enjawulo okusooka ng’omukiise w’abasawo mu lukiiko lwa Buganda. Ono yakola nnyo era ng’ezimu ku nteekateeka ez’obulamu ezitambuzibwa Obwakabaka zirimu omukono gwe.
Kamalabyonna agambye nti omugenzi abadde mukwano gwe era eyakola ennyo okujjanjaba maama we kati omugenzi era nga naye abadde amujjanjaba enfunda eziwerako.
Mukuumaddamula asaasidde nnyo abaana kubanga ebitalo bino we bigwiridde, babadde baakamala okuziika Nnyaabwe awamu ne baganda baabwe babiri era n’abasaba okwenyweza mu bumu, basobole okuyita mu kaseera kano.
Ku lulwe, Owek. Kiyimba, asaasidde abafamire wamu n’enju ya Nsibirwa olw’okufa kwa mukoddomi waabwe era n’asaba Omukama Katonda abagumye.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Robert Waggwa Nsibirwa nga yayogedde ku lw’ennyumba ya Katikkiro, Martin Lurther Nsibirwa, ategeezezza nti Dr. Kigonya abadde mukoddomi waabwe kuba yawasa Dr. Rosemary Namusisi Nsibirwa Kigonya kati omugenzi.
Owek. Nsibirwa agambye nti omugenzi Dr. Kigonya abadde muntu w’abantu era ng’ayagala nnyo famire ye era nga tasosola mu buli muntu gwe yali alinako oluganda.
Abaana b’omugenzi nga bakulembeddwamu, Simon Kigonya, asiimye abantu ababeereddewo era n’amutedereza ekisa n’omukwano gwa kitaabwe wamu n’okubakuza mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa.