• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obuwangwa

Katikkiro Mayiga akubirizza abantu okwenyumiriza mu nnimi ennansi

Gambuuze by Gambuuze
February 21, 2024
in Eby'obuwangwa
0 0
0
Katikkiro Mayiga akubirizza abantu okwenyumiriza mu nnimi ennansi
0
SHARES
21
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Makerere – Kyaddondo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu okwenyumiriza mu nnimi zabwe ennansi basobole okuzikuza era zitegeerwe abantu abalala.

Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde ku Ssettendekero wa Makerere bw’abadde yeetabye ku mukolo gw’okukuza ennimi ennansi mu nsi yonna ku Lwokusatu.

Owek. Mayiga agamba nti okuggyayo obukulu bw’ennimi ennansi osobola okujuliza ebigambo bya Nelson Mandera eyategeeza nti omuntu bw’oyogera naye ku lulimi lwe by’omugamba bigenda butereevu ku mutima.

Okukkaatiriza ensonga eno, Katikkiro Mayiga anokoddeyo ebigambo  by’omugenzi Livingstone Walusimbi bwe yagamba nti eggwanga eritalina  lulimi libeera ffu.

Owek. Mayiga akakasa nti tosobola kubeera  Munyankole oba Omulugwala omujjuvu nga tomanyi lulimi lwo wadde era waliwo obwetaavu okuyiga ennimi endala.

Ono asinzidde ku kunoonyereza okwakolebwa aba UNESCO nagattako  nti okukozesa  ennimi enzaaliranwa mu byenjigiriza kisobola okukendeeza ku muwendo gw’abatamanyi kuwandiika nakusoma wamu n’okukuumira abaana mu masomero.

Katikkiro Mayiga agamba nti ensonga y’okusomesa ennimi ennansi tesobola kwewalwa wabula okuteekawo enteekateeka esobola okuyamba okugitumbula mu bwenkanya.

Owek. Mayiga asinzidde wano nayozaayoza ekibiina ky’ebyennimi ku Ssettendekero ono nga kino kikulirwa Dr. Gilbert Gumushabu wamu n’ettendekero ly’ ebyennimi, Makerere University olw’okutumbula ennimi ennansi nga bazisomesa abaana nakakasa nti kino bwekigenda mu maaso zijja kutuuka ku mutindo gw’ennimi z’ensi eziri Uganda mu maaso mu byenkulaakulana.

Kinajjukirwa nti okujaguza olunaku lw’ennimi ennansi mu nsi yonna kwatandikira mu ggwanga lya Bangladesh naye oluvannyuma aba UNESCO enteekateeka eno nebagitwala mu maaso.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist