• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga akubirizza abantu obutasubwa birungi biri bibiina by’obweggassi

Gambuuze by Gambuuze
May 15, 2026
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga akubirizza abantu obutasubwa birungi biri bibiina by’obweggassi
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Bukoto – Buddu

Kamalabyonna ayogeddeko eri ebibiina by’obwegassi by’alambudde e Bukoto ku mbuga ye ggombolola Ssaabawaali Bukoto mu kaweefube w’okusitula omutindo gw’empeereza yaabwe.

Katikkiro Charles Peter Mayiga, abajjukizza ku bibiina by’obwegassi ebyali mu Masaka, enkulaakulana gye byaleeta omuli ebizimbe, ennyumba ennungi, obuyivu mu maka agatali gamu n’okufunira abantu emirimo. Agamba nti okufuna ensimbi zokwejjanjabya, okufuna ebisale by’essomero, okuba n’Amaka amalungi, okutuulako ne bannaffe, okuba abanyirivu, egyo gyegimu ku miganyulo egiri mu bwegassi era abakubirizza okubwettanira.

Kamalabyonna era annyonnyodde nti ensonga enkulu mu kuyitimusa obwegassi bwe bwerufu, awatali bwerufu kireeta obuli bw’enguzi, enguzi yesinze okuleetera abantu obwavu kubanga eremesa enkulaakulana okutuuka ku bantu. Yeebazizza Mukyala Bena Nampijja, Omwami atwala ggombolola Ssaabawaali Bukoto olw’obuweereza obulungi, neyeebaza Abaami ba Kabaka ab’omulembe guno Omutebi abamuweerezza wakati mu kutawaanyizibwa ba mutamanyangamba.

Katikkiro asinzidde wano n’asaba ab’ebitongole by’okwerinda abakolera mu bizimbe by’obwakabaka okusasula obusuulu oba baamuke embuga ezo obwakabaka buzeekulaakulanyize.

Ssentebe wa bboodi ya CBS Pewosa, Oweek Baale Mugera, ategeezezza nti ebibiina bino birina obukulembeze obulungi obubayambyeko okutuukiriza ebigendererwa byabwe eby’okwekulaakulanya. Agamba nti newankubadde embeera y’obudde ebatataaganya, basaze amagezi ag’okufunira abalimi obuuma obufukirira baleme kufiirizibwa.

Mu buwufu bw’okwongerako omutindo, abalimi bano nga bayita mu Pewosa bagenda kufuna endokwa entuufu era emmerezo z’azo zigenda kuteekebwa ku Ggombolola. Tebakomye awo, wabula era batandise kaweefube w’okuwa ensimbi enkalu eri abantu abalina ettaka naye nga tebeesobola kibayambe okutandika okulima e mmwanyi mu kifo ky’okulowooleza mu kutunda ettaka bagule bodaboda.

Minisita w’Obulimi Obulunzi obuvubi n’obwegassi, Oweek Hajji Amisi Kakomo Mukasa, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’enteekateeka y’obwegassi eyambye abantu ba Buganda okwebbulula mu nvubo y’obwavu.

Bena Nampijja, Omwami we ggombolola Ssaabawaali Bukoto abuulidde Kamalabyonna nga ekitongole ky’ebyamakomera ne Poliisi bwe byefunzizza ettaka n’ebimu ku bizimbe by’e ggombolola eno era bakaluubirizibwa okusinziirako okuweereza obulungo abantu ba Kabaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.