
Bya Ssemakula John
Namung’oona
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abaagalana bulijjo okusalawo beetwalire ekkula ly’obufumbo bwebaba baagalana okugenda mu maaso n’okukulaakulana.
Okwogera bino, Katikkiro Mayiga abadde ku mukolo nga munnamawulire wa Bukedde, Dickson Kulumba nga agattibwa ne munne Betty Namakula ku Lutikko ya Nicholas Omutukirivu e Namung’oona.
Owek. Mayiga agamba nti bulijjo abantu balemwa okutuuka ku buwanguzi obw’engeri ezitali zimu olw’okukandaalira okusalawo ku nsonga ez’enjawulo nasaba abantu okusalirawo mu budde.
“Tetwagala bavubuka kwekwasa, twatonderwa kusomoozebwa, buli lwetusomoozebwa mu bufumbo tuleke kukungiriza, tunoonye ebisomoozo kwebiva, tubisalire amagezi, nobufumbo bwe butyo buba bwa kusalira magezi,” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Mukuumaddamula bannamawulire abawadde amagezi okwettanira obufumbo obutukuvu kuba n’enkola y’omulimu gwabwe yetoolera nnyo ku mazima, obwesimbu awamu n’obwesige.
Katikkiro Mayiga yeebazizza Kulumba awamu ne bannamawulire abalala olw’ettofaali lyebatadde ku nteekateeka y’okuzza Buganda ku ntikko nga basaasaanya amawulire agakwata ku nteekateeka za Buganda ez’enjawulo.

Kamalabyonna era akubirizza abagole okuyigiriza abaana baabwe ebifa ku Bika byabwe, babatuume amannya agaabwe olwo ekika kyongere okunywera.
Ye Ssaabalarizi w’ekelesiya ya Orhthodox mu Uganda, Jeronymos Muzeeyi nga yagasse abagole abakubirizza okutuukiriza amateeka g’ ekelesita agakola ku bufumbo obutukuvu.
Ssaabalabirizi Muzeeyi asinzidde wano navumirira obufumbo bw’ekikula ekimu nategeeza nti obufumbo Katonda bwamanyi era obwo obwasooka bwali wakati wa Adam ne Eva era nasaba abantu okubukuuma.
Asabye abagole beewe ekitiibwa era oyo akuwa ekitiibwa ekitali kya kweraga, basobole okuwangaaza ekkula lino.









