
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga akubagizza ab’enju y’omugenzi Omutaka Lwomwa, Daniel Bbosa olwokufiirwa omuntu wabwe abadde ow’omugaso eri Buganda ne Uganda.
Owek. Mayiga omugenzi amwogeddeko nga omuntu abadde omukkakamu gw’otayinza kufunako nsonga ekukozesa ekintu ekyo eky’okumutta bwatyo neyeewunya abamuggye mu bulamu bw’ensi kyebamulanze.
” Gavumenti ejjanjabe omutemu eyasigaddewo awone atubuulire eyamutumye kubanga omukyala, abaana, n’abeddira Endiga, tebayinza kufuna mirembe okutuusa nga ategedde ensibuko eyatisizza omuntu wabwe,” Kamalabyonna Mayiga bw’annyonnyodde.

Ono agamba nti ku luno baagala ensi etegeere ekituufu ekivudde mu kunoonyereza sso ssi kubikomya mu bigambo alipoota negaana okuweebwa ensi.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti mu Buganda abantu bonna beenyumiriza nnyo mu Bika byabwe, era okuvuganya mu Bika kwa nnono era kwa buntubulamu nga tewaba kugwang’ana mu bulago.
Era agasseeko nga Abakulu b’Ebika bwebali empagi enkulu mu kunyweza ennono mu Buganda, nga abasse Lwomwa kbafumise luwombo lw’ abaganda kuba Ebika byebibagatta.
Mu kukubagiza kuno, Kamalabyonna Mayiga awerekeddwako minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Israel Kazibwe Kitooke wamu n’Abakungu abalala.









