Bya Stephen Kulubasi
Lubiri – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asisinkanye bajjajja abataka abakulu ab’obusolya n’abatangaaza ku bulamu bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. Bano Owek. Mayiga abasanze mu Lubiri e Mmengo enkya ya leero era nga babadde bakulembeddwamu omukubiriza waabwe Nnamwama Augustine Mutumba.
Mu nsisinkano eno Mukuumaddamula awerekeddwa omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Hajji Dr. Twaha Kigongo Kawaase, Minisita w’amawulire mu Bwabakabaka, Owek. Noah Kiyimba saako Minisita w’obuwangwa n’ennono, Owek. Kyewalabye Male, ate abataka bazze ne bakatikkiro b’ebika byabwe.
Kamalabyonna Mayiga abataka abategeezezza ku mbeera y’obulamu bwa Nnyinimu era n’abakakasa nga buli kimu bwekikoleddwa era nekikwatibwa mu ngeri esinga okubeera ey’ekikugu.
“Ensonga z’obulamu bwa Kabaka zifiibwako nnyo era abasawo obulwadde babumanyi ate babukolako.” Owek. Mayiga bw’akkaatirizza.
Bano Owek. Mayiga abakakasizza nti tewali bwetaavu bwa kutwala Nnyinimu mitala w’amayanja essaawa eno, kuba eby’okugenda ebweru si musono era wadde eby’obujjanjabi mu ggwanga biri bubi naye ate waliwo abasawo abakugu abasobola okujjanjaba Omuteregga obulungi.
Katikkiro Mayiga abataka abasabye obutagendera ku bya mitimbagano era singa abasawo banaalaba nti kyetaagisa Kabaka okutwalibwa ebweru, kijja kukolebwa era bw’atyo n’abasaba okugamba ku bazzukulu baabwe bakkakkane.
Ono yeewuunyizza omuntu abeera ewala okumanya obwetaavu bw’obujjanjabi Kabaka n’okumanya bye yeetaaga mu kaseera kuno nga tasoose kwefumiitiriza na kumanya nti Omutanda alina abantu abamwetoolodde era abamufaako obulungi.
Asabye abaganda okwongera okusabira Kabaka Mutebi Omukama amussuuse era tebaganya abo abeenoonyeza ebyabwe okubawugula. Ku nsonga z’okukulaakulanya n’okukuuma Obutaka obwenjawulo, Katikkiro Mayiga akoowodde abo abatannaba kuwandiisa nkiiko z’abayima abavunaanyizibwa ku bintu by’ekika, okukikola mu bwangu era n’asaba abo abakyalina enkaayana ku ttaka ly’obujjajja ensonga okuzikwata empola naye n’obwegendereza obwekitalo.
Omutaka Nnamwama Augustine Mutumba asiimye Katikkiro olw’ensisinkano eno n’agattako nti kibawadde essanyu okumanya ebituufu ebifa ku Magulunnyondo nga biva buteerevu mu kamwa ka Katikkiro Mayiga.
Nnamwama Mutumba asabye Obwakabaka okuteekawo enteekateeka okusomesa abaana n’abazzukulu mu b’abataka basobole okuganyula Obwakabaka, kuba okuva ne ku mirembe gy ‘abazungu, bano bammibwa omukisa okubangulwa wadde ng’abaana b’abaami baagufuna.
Oluvannyuma Katikkiro n’Abataka beevumbye akafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire okwongera okuttaanya ku nsonga ez’enjawulo.